Kyanakiwala Lynda Ddane omukozi ku NTV abotodde ekyama kya mukozi munne Faridah Nakazibwe omusomi w’amawulire ku NTV ne Pulogulaamu ya ‘Mwasuze Mutya’.
Nakazibwe mukyala muzadde kyokka wadde alina abaana, kigambibwa talina musajja amanyikiddwa mu kiseera kino oluvanyuma lw’okwawukana ne Dr. Omar Ssali eyali muganzi we wadde teyamuzaalira mwana yenna.
Mu kiseera kino y’omu ku bakyala abali ku muddaala gwa banoonya newankubadde ali mu ssanyu akola mirimu gye.
Oluvanyuma lwa Nakazibwe okwawukana ne Dr Ssali, kigambibwa omuyimbi Kiggundu Bruno amanyikiddwa nga Bruno K yafuna omukisa okumusaba omukwano.

Nakazibwe agamba nti Bruno K mutabani we wabula mu waliwo enjogera egamba nti awali omukka tewabula muliro, tewali kigaana Bruno K kuba mu laavu ne Nakazibwe wadde amusiinga ku myaka.
Wadde ebigambo bitambula nti Nakazibwe myaka 37 talina musajja, waliwo abagamba nti akyali mu laavu ne Dr. Ssali wadde baali bafunyemu obutakaanya.
Wabula Nakazibwe asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram era alaga nti abadde ku ssimu kwe kubuuza abantu okuteeba omuntu gw’abadde ayogera naye ku ssimu, “Guess whose vibe I was blushing to….as you“.
Amangu ddala, Lynda Ddane avuddeyo okulaga nti Nakazibwe amutegeera bulungi nnyo era agambye nti abadde ‘Blue No K’.

Lynda Ddane okuvaayo kiraga nti Nakazibwe ayogera nnyo ku ssimu ne Bruno K era ebigambibwa nti ayinza okuba ali mu laavu naye, biyinza okuba ebituufu newankubadde tewali alina bukakafu.
Bruno K musajja muyimbi era y’omu ku bayimbi abalina eddoboozi eddungi mu kisaawe ky’okuyimba.
Ezimu ku nnyimba ezimufudde omuyimbi owenjawulo mwe muli Omuwala, Aliwa, Ntwaawa, Faridah, Abalongo, Nkooye Okulowooza n’endala.

Mu luyimba Faridah, Bruno K agamba nti, “Ndabye banji ntoko, Ntambudde amawanga munsi naye oli Malaika yeah yi yeah yeah, Nabibade bimbuza otulo from the time i met you byakoma, Byona wabimponya, yeah yi yeah yeah (Faridah, Faridah) wabula baby wanyamba Nokiriza n’ofumba, Wamponya Teddy Bear ez’okutuula mu ntebbe, Nze byali byanketa Nga ebya Love Tonyumiza, When I met you baby, You turned my life so amazing“.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/187201736815918