Omuwala afunye olubuto ku myaka 13, abazadde bavudde mu mbeera.
Abakulembeze mu bitundu bye Banda mu Divizoni y’e Nakawa mu Kampala basobeddwa olw’omuwendo gw’abaana abawala abafunye embutto ku myaka emito.
Abakulembeze bagamba nti wakati mu kulwanyisa Covid-19, abawala wakati w’emyaka 13 – 18 bangi bafunye embutto nga kivudde ku massomero okuggalwa olw’okutangira okusasaanya obulwadde.
Okusinzira ku bazadde, mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19, bangi ku baana abawala bakeera okutayaaya, abamu benyigidde mu kutambuza ebintu omuli amenvu, amaggi, muwogo, sumbuusa ekivuddeko abasajja okubasobyako.
Abawala abamu okubulwa ebyetaagisa nga bagenze mu nsonga, kivuddeko abamu okufuna abalenzi ku myaka emito ssaako n’abasajja abakulu okubabuzabuza era bangi bafunye embutto.
Wosomera bino ng’omuwala (amannya gasirikiddwa) myaka 13 nga mutuuze we Banda yafunye olubuto kyokka agamba nti tamanyi ani nannyini lubuto.
Omuwala wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti abadde alina abalenzi babiri (2) kyokka ekyembi baamukozesa ku lunnaku lumu era mu kiseera kino tayinza kumanya ani nannyini lubuto.
Bw’abuuziddwa amannya g’abalenzi agambye nti tagamanyi wabula amanyi ffeesi zaabwe zokka.
Omuwala agamba nti abalenzi babadde bamutwala mu kiyumba ekitanaggwa okumukozesa ku nnaku ezenjawulo.
Omuwala agamba nti okunoonya ssente okwegulira ebintu omuli ppaadi y’emu ku nsonga lwaki yatya okutegeeza ku bazadde.
Abakulembeze e Banda bayingidde mu nsonga okunoonya abalenzi ku misango gy’okusobya ku mwana omuwala myaka 13.
Mu kiseera kino abakulembeze bagamba nti, abaana abafuna embutto beyongedde era bangi tebagenda kudda ku massomero.
Ate abasirikale abali ku ddimu ly’okulwanyisa okubba ente mu bitundu bye Karamoja bagamba nti, okunoonyereza kulaga nti abasawo b’ebisolo mu disitulikiti nabo baali benyigidde mu bubbi.
Ekyama kino kibotoddwa omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Karamoja Mr. Micheal Longole bw’abadde awayamu naffe mu offiisi ye mu disitulikiti y’e Moroto.
Mr. Longole agamba nti wakati mu kuggyako abantu emmundu mu bitundu bye Karamoja, waliwo abasawo bebisolo 2 abakwattiddwa mu disitulikiti y’e Abim ne Nabilatuk ng’abawa ababbi olukusa okutambuza Ente enzibe, ekintu ekimenya amateeka.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/380151400333905