Omuyimbi Spice Daina alase abadigize mu ggwanga erya Tanzania nga bafunye ku ssanyu oluvanyuma lw’okubakuba omuziki.
Spice yabadde alina ekivvulu e Mutukula mu ggwanga erya Tanzania era abadigize baavudde mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Spice yakubye ennyimba ez’enjawulo ekyawadde abadigize essanyu.
Wabula ng’ali ku siteegi, yasabye Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okubakkiriza okuddamu okukuba endongo.
Wano mu Uganda, ebivvulu byawerebwa mu March, 2020 olw’okutangira okutambuza Covid-19 era mu kiseera kino, abayimbi balina ennyonta y’ebivvulu n’okuyimba.
Vidiyo!