Oluvanyuma lw’amawulire okulaga nti munnamawulire Andrew Kabuura abadde ayenda ku mukyala we Flavia Tumusiime, buli ssaawa, ebipya byongera okuzuuka.
Kabuura abadde ali mu laavu ne muk’omusajja Mercy Twinomujuni ali mu gy’obukulu 30.
Okusinzira ku bubaka bw’omukwano ku whatsApp, tewali kubusabuusa kwonna, Kabuura abadde ali mu laavu ne Mercy.
Kabuura abadde alaga nti Mercy muwala mulungi nnyo mu nsonga z’omu kisenge ssaako n’okweyambisa ebigambo ebyenjawulo okuwaana n’okususuuta.
Amawulire galaga nti Mercy mukyala mufumbo. Kigambibwa mukyala wa Pasita Philip Tumwebaze mu Kampala ssaako n’ebitundu bye Mbarara.
Amawulire era galaga nti Twinomujuni muganzi wa Kabuura akolera ku kitebe kya Bufalansa mu Uganda wadde tekinakakasibwa.
Kigambibwa Kabuura ne Mercy baludde nga bali mu laavu.
Abamu ku mikwano gya Kabuura abagaanye okwatuukiriza amannya gaabwe, bagamba nti omuwala Mercy abadde mukwano gwa Kabuura okumala ebbanga era enkolagana yatandika mpolampola.
Lwaki bagenda mu Loogi!
Omuwala Twinomujuni alina omusajja ate ne Kabuura alina omukyala nga buli omu abadde alina okukola kyonna ekisoboka okukuuma obufumbo bwe.
Kabuura ne Mercy babadde balina Loogi gye bagendamu mu bitundu bye Kyanja buli Lwamukaaga.
Loogi (amannya gasirikiddwa) eri mu ggeeti ate mu kompawundi mulimu ekidiba ekiwugirwamu (Swimming Pool) nga ku ggeeti, kuliko abasirikale babiri (2) abakuuma ekifo okuva mu kitongole ky’obwannanyini ekikuumi (amannya gasirikiddwa).
Omu ku bakozi ategerekeseeko erya Sarah agambye nti Kabuura yatandika okutwala Mercy mu kifo kyabwe omwaka oguwedde ogwa 2020.
Sarah agamba nti mu kusooka, Kabuura yatya kuba namuyita erinnya nti, “OMG Kabuura, Katonda omulungi, Kabuura ng’olabika bulungi, buligyo mbadde nkulabira ku Ttiivi naye kati laba nkulabyeko”.
Sarah agamba nti Kabuura wadde yali musanyufu yalaga nti atidde nnyo kuba yali tasuubira kusaanga muntu yenna amumanyi ng’ali ne Mercy.
Kabuura yakwata mu nsawo era yawa Sarah emitwalo shs 100,000 era yamusaba okusirikira ekyama kuba mukyala we Flavia akyamwetaga.
Amawulire galaga nti essimu ya Twinomujuni yabiddwa abantu abatamanyiddwa era y’emu ku nsonga lwaki ekyama wakati we ne Kabuura kitambudde eggwanga lyonna.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/179864624222891