Kyaddaki owa bodaboda abadde atwalira Andrew Kabuura muk’omusajja Mercy Twinomujuni mu Loogi okwesa empiki avuddeyo oluvanyuma lw’amawulire okutambula ku mikutu migatta abantu omuli Face Book, WhatsApp n’emirala.
Okuva ku Lwomukaaga, mesegi za WhatsApp zibadde zitambula nga ziraga nga Kabuura bw’aludde ng’ali mu laavu ne muk’omusajja Mercy wadde musajja mufumbo.
Kabuura musajja mufumbo era mukyala we Flavia Tumusiime yamuwasa mu 2019 nga mu kiseera kino balina omwana omu.
Wabula ne Mercy mukyala mufumbo era kigambibwa bba musajja munnadiini Pasita Philip Tumwebaze mu Kampala ssaako n’ebitundu bye Mbarara.
Babadde bagenda mu Loogi!
Omuwala Twinomujuni alina omusajja ate ne Kabuura alina omukyala nga buli omu abadde alina okukola kyonna ekisoboka okukuuma obufumbo bwe.
Kabuura ne Mercy babadde balina Loogi gye bagendamu mu bitundu bye Kyanja buli Lwamukaaga.
Loogi (amannya gasirikiddwa) eri mu ggeeti ate mu kompawundi mulimu ekidiba ekiwugirwamu (Swimming Pool) nga ku ggeeti, kuliko abasirikale babiri (2) abakuuma ekifo okuva mu kitongole ky’obwannanyini ekikuumi (amannya gasirikiddwa).
Omu ku bakozi ategerekeseeko erya Sarah agambye nti Kabuura yatandika okutwala Mercy mu kifo kyabwe omwaka oguwedde ogwa 2020.
Amawulire galaga nti essimu ya Twinomujuni yabiddwa abantu abatamanyiddwa era y’emu ku nsonga lwaki ekyama wakati we ne Kabuura kitambudde eggwanga lyonna.
Owa Bodaboda ayogedde!
Owa bodaboda ategerekeseeko erya Juma agamba nti Mercy mukwano gwe nnyo era omukwano gwabwe ne Kabuura gubadde gwakyama nnyo kyokka yewunyiza ebyama okubiraba ku WhatsApp nga bitambula.
Juma agamba nti Mercy abadde ayagala Kabuura okuva omwaka oguwedde ogwa 2020 kyokka wadde Kabuura alina emmotoka, okugenda mu loogi, omukyala Mercy abadde atambulira ku bodaboda okusobola okukuuma ekyama kyabwe.
Agamba nti, “Mercy ye mukyala mwenzi, alina abasajja ab’enjawulo kuba nze mbadde mutwala nnyo ku Loogi mu bitundu bye Kyanja era nakwewunya okutegeera nti ali mu laavu ne Kabuura. Kabuura nali mumanyi kuba nze ndi musajja wa byamizannyo“.
Juma era agamba nti, “Mercy abadde ankubira essimu okumutwala e Kyanja ku Lwokutaano oba ku Lwomukaaga kyokka olw’okuba mukyala mufumbo, mba nina okumutwala ate oluvanyuma lw’essaawa nga 2, okumuzaayo awaka, Agamba nti omukazi bwenzi nnyo naye alina omusajja ategeera“.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/179864624222891