Kyaddaki, omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala agobye omusango gwa munna National Unity Platform (NUP) Fred Nyanzi Ssentamu, mukulu wa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ogw’ebyokulonda.

Nyanzi yaddukira mu kkooti enkulu mu Kampala ng’awakanya obuwanguzi bwa Muhammad Nsereko ng’omubaka wa Kampala Central, okuvunaana akakiiko k’ebyokulonda ssaako n’eyali akulira eby’okulonda mu Kampala mu kulonda okuwedde, okwekobaana ne benyigira mu kubba akalulu.

Nyanzi abadde agamba nti okulonda kwonna wamu n’okubala akalulu kwalimu vvulugu, nga yakolebwa kakiiko ka byakulonda awamu ne baagenti ba Nsereko.

Wabula enkya ya leero, omulamuzi wa kkooti Margeret Apinyi agobye omusango ogwo, olwa Nyanzi ne bannamateeka be, okulemwa okutegezaako Nsereko mu butongole nti mu kkooti, alina omusango gw’ebyokulonda.

Ensalawo ya kkooti esomeddwa omwogezi w’ekitongole ekiramuzi Jameson Karemani, ekirese Nyanzi ne bannamateeka be nga basobeddwa.

Wabula oluvudde mu kkooti, wadde Nyanzi abadde asobeddwa, alangiridde okwebuuza ku bannamateeka be nga bakulembeddwamu Justine Semuyamba okulaba ekiddako.

Nyanzi agumizza Bannakampala nti ayinza okujjulira okwongera okuswaza n’okulabisa ekitongole ekiramuzi.

Okuddukira mu kkooti enkulu mu Kampala, ne kkooti y’e Mmengo esookerwako yagoba omusango gwe olw’obutaba na bujjulizi.

Mu kulonda, Nsereko yawangula ng’afunye obululu 16,988 ate Nyanzi yafuna 15,975 nga waliwo enjawulo ya bululu 1,013, Nyanzi ekintu kyabadde awakanya.

Balooya ba Nyanzi, baludde nga bagamba nti okubba akalulu, kwali mu bifo eby’enjawulo omuli Bakerville e Kololo, Kiyindi Mosque, Old Kampala SS, Mukwano Center, Kitawuluzi Hall (A-Z) Hajj Katende Home, National Thearter, Kiguli Mango Tree, Superior Complex, Summit View, Bus Park Nakivubo, Kibwa Zooni, Balikuddembe Primary School, Kitanmte Courts, KCC Primary Scholl Muh-Z ne Tlc Leisure Center.

Ebirala kuliko: Blue Room Zooni – Chairmans Place, Basajjabalaba Taxi Park (A-K), Basajjabalaba Taxi Park (L-Nam) , Nakasero (A-L) , Hoima Road Flats, All Saints B, York Village – East Kololo Primary School, Mackenzie –East Kololo Primary School, Kiyindi Mosque, All Saits A, Muti Bay Car Washing Bay, Baptist Church, Kakajo 1 Zone ne Seroma Park Yard. Ebifo ebirala mu Kampala kwe kuli (N-Z), Seventh Day Adventist Church (A- Kh), Kiira Road Police Playground, Dafoliles Academy, NHCC Flats, Seventh Day Church (Nat-Z), Seventh Day Church (Ki-Naki), Kibwa Zone, Balikuddembe Primary School. Awalala Kasaato Zone (A-L) TLC Leisure Center (A-J), Park Yard (A-M), Central Zone, Community (A-L), TCL Leisure Center (A-J), Management Institute, Rutabaga Road LC Meeting, Rutabaga Road Printer , Muyembe Mawanda, Jambula (A-M), Two Way Primary School (A-M), KCC Primary School (A-Hug), Homisdallen Primary School (N-Z), Homisdallen (N-Z) , Kalina, Bat Valley Primary School, Park Yard (N-Z) ne ku Nalunkuuma road poliing station.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/369426654778845