Mu nsi y’omukwano, buli muntu ayagala nnyo okufuna omuntu nga mwesigwa era kiyamba nnyo okuwangaza obufumbo n’okwetangira endwadde omuli siriimu.
Okuva olunnaku Olwomukaaga ku mikutu migatta abantu, ensonga ya munnamawulire Andrew Kabuura ekutte wansi ne waggulu.
Mesegi za WhatsApp eziri mu kutambula ziraga nti Kabuura abadde mu laavu ne muk’omusajja Mercy Twinomujuni ali mu gy’obukulu 30 okuva omwaka oguwedde ogwa 2020.
Ebiriwo, biraga nti Kabuura muk’omusajja Mercy abadde amutwala mu loogi mu bitundu bya Kyanja okwesanyusa.
Mercy mukyala mufumbo era bba musajja munnadiini Pasita Philip Tumwebaze mu Kampala.
Kigambibwa Pasita Tumwebaze okusulirira amaka, y’emu ku nsonga lwaki Mercy abadde mu laavu ne Kabuura nga yetaaga omusajja ayinza okumunazaako enaku y’omu kisenge.
Kabuura naye musajja mufumbo era omwaka gwa 2019, yakuba mukyala we Flavia Tumusiime embaga era mu kiseera kino balina omwana omu.
Lwaki ebya Kabuura sibirungi!
Kigambibwa Flavia yafunye mesegi za WhatsApp eziraga nti bba abadde amwendako akawungeezi k’olunnaku Olwomukaaga nga 11, Ogwomwenda, 2021 ku ssaawa nga 2 ez’ekiro.
Flavia yawunze okusinzira ku mukwano gwe (amannya gasirikiddwa) nga yewuunya lwaki bba Kabuura abadde akola obwenzi era amangu ddala yayingidde mu kisenge nga bimusobedde.
Olw’obusuungu, yaggyeeko essimu okusobola okutangira bba okumukubira.
Okuva ku Lwomukaaga, Flavia munyivu nnyo era agezaako nnyo okwewala okwogera ku nsonga za Kabuura.
Mukwano gwa Kabuura ategerekeseeko erya Musa ayogedde!
Musa agamba nti Kabuura ayagala nnyo mukyala we Flavia kyokka okuva ku Lwomukaaga, akyalemeddwa okufuna engeri gy’agenda okumunyonyola n’okwetonda.
Musa agamba nti olunnaku olw’eggulo ku Mmande, Kabuura yabadde ategese okutwala Flavia mu kifo ekimu ekisanyukirwamu mu Kampala okwewozaako n’okunyonyola kyokka mbu Flavia yagaanye okukwata essimu ye.
Agamba nti Kabuura yategezezza nti Flavia yamusabye okumuwa akadde okwerowooza era okuva ku Lwomukaaga, ebintu si birungi nga yejjusa lwaki yatwala ggonya okuwuuta supu wa Mercy.
Musa agamba nti ng’omukyala omulala yenna, singa ategeera nti bba abadde alina omukyala ow’ebbaali, ebintu bingi bikyuka nga ne Kabuura mu kiseera kino alina okwetonda okusobola okukuuma obufumbo bwe.