Omukyala Rehema Nanyonjo ali mu gy’obukulu 40 awanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe okuyimbula bba Micheal Ssemuddu eyawambibwa omwaka oguwedde.

Nanyonjo nga mutuuze we Masanafu, Kinoonya mu Kampala, agamba nti kabiite we Ssemundu yatwalibwa abasajja abaali mu ngoye z’amaggye okuva ku  dduuka lye ku Kumunaku e Lubaga nga 21, November, 2020.

Agamba nti bba okutwalibwa, yateekebwa mu mmotoka eyakazibwaako erya ‘Drone’ era bukya atwalibwa, bakebedde ku Poliisi ez’enjawulo omuli Natete, Kampala Mukadde, Ndeeba, ekitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS, Katwe wabula bakyalemeddwa okumuzuula nga ne mu kkooti, tebamutwalangayo.

Micheal Ssemuddu

Omukyala wakati mu kulukusa amaziga, asabye ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi n’maggye okuyimbula bba ate bw’aba yattibwa, balinze okubaddiza omulambo naye bakooye embeera y’okulimbalimba abaana ku nsonga za Kitaabwe.

Nanyonjo agamba nti bba yali akomyewo okuva mu kalulu ka ssentebe wa LC3 mu zzooni y’e Nakulabye 2, 3 ne 4.

Eddoboozi lya Nanyonjo

Ate muto wa Ssemuddu, Mathew Kafeero agamba nti bakoze buli kimu okuzuula omuntu waabwe wabula okuva omwaka oguwedde, bakyalemeddwa okuzuula ani yamutwala ssaako n’ekifo gye bamutwala.

Kafeera agamba nti abasirikale abamu babagyeko ssente nga basuubiziddwa okunoonya omuganda waabwe wabula tewali kirungi kivuddemu.

Agamba nti Ssemuddu yali alina abaana babiri (2) abaali balina okutuula S4 omwaka oguwedde ogwa 2020 wabula olwe ssente, omwana omu yalemwa okutuula ebigezo.

Olwa Famire okulumiriza amaggye okutwala omuntu waabwe, omwogezi w’amaggye Brigadier Gen. Flavia Bwekwaso ayogeddeko naffe era agambye nti ensonga eyo yetaaga okunoonyereza okuzuula ekituufu.

Mungeri y’emu agamba nti bwe kiba nga ne Poliisi terina muntu waabwe (Ssemuddu), okunoonyereza okwamaanyi kwetaagisa.

Wabula abamu ku batuuze bagamba nti Ssemuddu ayinza okuba yatwalibwa abasirikale nga balowooza nti yali omu ku bantu abaali bakulembeddemu okwekalakaasa mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo mu November, 2020 n’okusingira ddala mu Kampala oluvanyuma lwa Poliisi okukwata Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine mu kisaawe ky’essaza lye Luuka mu kiseera kya Kampeyini bwe yali yesimbyewo ku bwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda okuwedde mu Janwali, 2021.

Bobi Wine lwe yakwatibwa

Kigambibwa Bobi Wine yali akulembeddemu okugyemera ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni eby’okulwanyisa Covid-19 omuli n’okuwera enkungaana mu kampeyi.

Okwekalakaasa kwaliwo mu nnaku 2, okuva nga 18 – 19, November, 2020 era abantu abasukka 20 battibwa nga n’abasukka mu 1000 baakwatibwa.

Embeera eyali mu ggwanga

Ng’omukyala omulala yenna, ne Nanyonjo ku myaka 40 omubiri gubanja kuba naye muntu anyumirwa ensonga z’omu kisenge nga kiruma okusiba bba okuva omwaka oguwedde mu November.

Alina essimu era ali ku WhatsApp kale singa alaba ebifaananyi nga baana abanyumirwa obulamu ne Andrew Kabuura alaga ggonya, yennyamira.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/369426654778845