Mu nsi y’omukwano, buli muntu alina okukola ebintu ebyenjawulo, okulaga munne nti amufaako kuba kiyamba nnyo mu kuwangaza omukwano.

Omusajja alina okuwa omukyala obulamu bwe bwonna okulaga nti omutima guli ku muntu omu ate n’omukyala alina okweyisa mu ngeri eraga obwesigwa eri muganzi we.

Mu mukwano, okwesigang’ana mpagi nkulu nnyo era y’emu ku nsonga lwaki omukwano  gusobola okuwangaala.

Obwesigwa, kiyamba okutumbula enkolagana, enkulakulana n’essanyu mu famire.

Wosomera bino ng’omusajja alaze muganzi we nti kafulu mu nsonga z’omu kisenge era alina ebisoko mu laavu.

Omusajja atutte muganzi we okulya obulamu mu kifo ekisanyukirwamu kyokka oluvanyuma lw’okunywa ‘shisha’ omukka agufuuye mu bitundu by’ekyama, ekiwadde omuwala essanyu.

Oluvanyuma amukutte mu bitundu by’omubiri ebyenjawulo okulaga abantu nti ye ne muganzi we, omukwano guli mu ggiya nnene.

Kigambibwa bali mu ggwanga erya Nigeria era omukwano wakati waabwe, abantu bagamba nti ekyo kye bayita laavu.

VIDIYO!