Munnakibiina ki National Unity Platform (NUP) Fred Nyanzi Ssentamu, mukulu wa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alemeddeko ayagala buyinza, alangiridde okuddukira mu kkooti ejjulirwamu okuwakanya ebyasaliddwawo kkooti enkulu mu Kampala.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Margeret Apinyi yagobye omusango gwe ogw’ebyokulonda.

Nyanzi yaddukira mu kkooti enkulu mu Kampala ng’awakanya obuwanguzi bwa Muhammad Nsereko ng’omubaka wa Kampala Central, okuvunaana akakiiko k’ebyokulonda ssaako n’eyali akulira eby’okulonda mu Kampala mu kulonda okuwedde, okwekobaana ne benyigira mu kubba akalulu.

Nyanzi agamba nti okulonda kwonna n’okubala akalulu kwalimu vvulugu nga yakolebwa akakiiko k’ebyokulonda wamu ne Baagenti ba Nsereko.

Wabula ensalawo ya kkooti eyasomeddwa omwogezi w’ekitongole ekiramuzi Jameson Karemani, omulamuzi Apinyi yagobye omusango gwa Nyanzi.

Omulamuzi yagambye nti Nyanzi ne bannamateeka be baalemwa okutegeeza Nsereko nti mu kkooti alina omusango gw’ebyokulonda ng’omusango tegusobola kugenda mu maaso.

Wabula Nyanzi ng’asinzira ku kitebe kya NUP e Kamwokya, agambye nti alina okweyongerayo mu kkooti ejjulirwamu okunoonya obwenkanya.

Agamba nti teyamatidde na nsala ya kkooti era alina ekikolebwa, kiraga nti bagezaako okulemesa enkola y’amateeka.

Nyanzi alabise nti mukambwe kwebyo ebyavudde mu kkooti, agambye nti kiswaza kkooti, akakiiko k’ebyokulonda, n’abantu abatwaliddwa mu kkooti ku misango gy’okulonda, okwekobaana okulemesa emisango.

Mungeri y’emu agambye nti balina okweyambisa amateeka okutereeza eggwanga lino kyokka ebyavudde mu kkooti, biraga nti omulamuzi Apinyi yabadde teyetengeredde.

Eddoboozi lya Nyanzi

Okuddukira mu kkooti enkulu mu Kampala, ne kkooti y’e Mmengo esookerwako yagoba omusango gwe olw’obutaba na bujjulizi.

Mu kulonda nga 14, Janwali, 2021, Nsereko yawangula ng’afunye obululu 16,988 ate Nyanzi yafuna 15,975 nga waliwo enjawulo ya bululu 1,013, Nyanzi ekintu kyawakanya.

Balooya ba Nyanzi, baludde nga bagamba nti okubba akalulu, kwali mu bifo eby’enjawulo omuli Bakerville e Kololo, Kiyindi Mosque, Old Kampala SS, Mukwano Center, Kitawuluzi Hall (A-Z) Hajj Katende Home, National Thearter, Kiguli Mango Tree, Superior Complex, Summit View, Bus Park Nakivubo, Kibwa Zooni, Balikuddembe Primary School, Kitanmte Courts, KCC Primary Scholl Muh-Z ne Tlc Leisure Center.

Ebirala kuliko: Blue Room Zooni – Chairmans Place, Basajjabalaba Taxi Park (A-K), Basajjabalaba Taxi Park (L-Nam) , Nakasero (A-L) , Hoima Road Flats, All Saints B, York Village – East Kololo Primary School, Mackenzie –East Kololo Primary School, Kiyindi Mosque, All Saits A, Muti Bay Car Washing Bay, Baptist Church, Kakajo 1 Zone ne Seroma Park Yard. Ebifo ebirala mu Kampala kwe kuli (N-Z), Seventh Day Adventist Church (A- Kh), Kiira Road Police Playground, Dafoliles Academy, NHCC Flats, Seventh Day Church (Nat-Z), Seventh Day Church (Ki-Naki), Kibwa Zone, Balikuddembe Primary School. Awalala Kasaato Zone (A-L) TLC Leisure Center (A-J), Park Yard (A-M), Central Zone, Community (A-L), TCL Leisure Center (A-J), Management Institute, Rutabaga Road LC Meeting, Rutabaga Road Printer , Muyembe Mawanda, Jambula (A-M), Two Way Primary School (A-M), KCC Primary School (A-Hug), Homisdallen Primary School (N-Z), Homisdallen (N-Z) , Kalina, Bat Valley Primary School, Park Yard (N-Z) ne ku Nalunkuuma road poliing station.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/369426654778845

Bya Nalule Aminah