Ebya Kabuura ne Mercy, ani musobya!
Mu kiseera nga bangi ku bannayuganda bakyebuuza ekyawaliriza munnamawulire Andrew Kabuura okwenda, ebipya byongedde okuzuuka.
Okuva ku ntandikwa ya sabiiti eno, Kabuura abadde nnyo mu mawulire n’okusingira ddala ku mikutu migatta bantu omuli Face Book, Instagram oluvanyuma lwa mesegi za WhatsApp okufuluma ng’abadde akola obwenzi ku mukyala we Flavia Tumusiime.

Kabuura yawasa Flavia mu 2019 era mu kiseera kino balina omwana omu.
Wabula mesegi ziraga nti Kabuura abadde mu laavu ne muk’omusajja Mercy Twinomujuni ali mu gy’obukulu 30 okuva omwaka oguwedde ogwa 2020.

Wadde Kabuura musajja mufumbo, Mercy naye mukyala mufumbo era amawulire galaga nti bba musajja munnadiini Philip Tumwebaze mu Kampala.
Wabula lwaki Kabuura abadde ayagala Mercy?
Okusinzira ku Ssenga Kawomera omukugu mu nsonga z’omukwano, laavu kintu kizibu nnyo era abantu abamu bayinza okulemwa okuwa ensonga lwaki ali mu laavu n’omuntu.
Ssenga Kawomera agamba nti omusajja omufumbo okwagala omukyala omulala, kiva ku bintu bingi.
Agamba waliwo omusajja ng’alimu embala y’omwenzi era singa omukyala yenna afuna omusajja bwatyo, kiba kizibu nnyo okwesonyiwa obwenzi.
Mungeri y’emu agamba nti omusajja omufumbo ayinza okwagala omukyala ebbali nga kivudde ku mbeera y’awaka.
Ssenga agamba nti waliwo abakyala abalemwa okuwa abasajja obudde mu nsonga z’omu kisenge. Agamba ekyo kiviiriddeko abasajja bangi okwenda kuba obutonde busigala bubanja.
Abakyala okulemwa okuwa abasajja emirembe, kyongedde okusindikiriza abaami okunoonya abakyala abalala, okufuna wayinza okufuna ku ssanyu.
Ssenga Kawomera agamba nti omuntu yenna okutangira omuntu we okwenda, alina okukola ebintu ebyenjawulo.

Agamba wadde Flavia muwala mulungi, ayinza okuba tategeera bulungi nsonga za kisenge nga Mercy alimu ssupu. Alabudde Flavia okukola kyonna ekisoboka okukuuma obufumbo bwe kuba omusajja yenna oba omukyala singa alozako ebbali, ebintu ne bitambula bulungi, ayinza okukyusa endowooza ye.
Omuwala ayogedde!
Omu ku bawala abakola ku loogi mu bitundu bye Kyanja (amannya gasirikiddwa) agamba nti loogi zaabwe za mitwalo 70,000 olunnaku oba ekiro kimu.
Agamba nti omuwala Mercy emirundi gyonna, ng’asooka Kabuura okutuuka mu loogi era olumutwala mu kisenge, ng’omukyala omulala yenna, aba alina okunaaba, okusobola okulinda muganzi we.

Omuwala agamba nti Kabuura emirundi mingi yatuukanga ku loogi ng’ali ku ssimu kyokka musajja mulungi nnyo kuba emirundi mingi bw’aba agenda, yamuwaanga ku ssente wakati 10,000 – 20,000.
Lindirira ebiddako ku nsonga za Kabuura…..
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/369426654778845