Omukyala akubye omulanga, bw’agobeddwa ku kyalo oluvanyuma lw’okusingisibwa omusango, gw’okubaliga era bamugobye mu nnyumba.
Omukyala ono Felesita Ngendahimana ali mu gy’obukulu 45 abadde mutuuze ku kyalo Kabuga mu ggoombolola y’e Nyakabande mu disitulikiti y’e Kisoro, yagobeddwa era abatuuze basigadde basakaanya ssaako n’okumulangira ebisongovu.
Omukyala ono, bba Phillip Ngendahimana akolera mu Kampala era akawungeezi k’olunnaku Olwokubiri, abaana balabiddawo nga nnyaabwe aleese omusajja munnamaggye era omusajja yasibidde mu kisenge kya kitaabwe.
Mu kiro, wakati mu kusinda omukwano, abaana bavudde mu mbeera nga bakooye ejjoogo lya nnyaabwe okuleeta abasajja mu nnyumba era amangu ddala kwe kutegeeza ku Baneyiba.

Abatuuze ssaako n’abaana, baasobodde okusika omusajja mu kisenge era yasibiddwa emiguwa kuba yabadde munnamaggye ng’ayinza okubayisaamu empi.
Wabula mu lukiiko lw’ekyalo, olukubiriziddwa ssentebe Augustin Rudahunga abatuuze bakaanyiza omukyala, bamugobe ku kyalo kuba si mwesigwa era wadde bba abadde mu Kampala, ku ssimu naye akaanyiza n’abatuuze.
Omukyala Felesita mu kwewozaako agambye nti bba abadde asukkiridde okulwa mu Kampala, okumulumya mu nsonga z’omu kisenge nga y’emu ku nsonga lwaki yakoze nsobi.
Ate bonna abaana abataano (5) bakaanyiza n’abatuuze, Nnyaabwe agende okusinga, okuleeta abasajja mu nju ya kitaabwe.
Ku kyalo Felesita agobeddwa n’omuwala Dushime Ancilla myaka 24 abadde amuletera abasajja.
Wadde munnamaggye ayimbuddwa okuddayo mu kitebe ky’amaggye ekya Nyakabande, ssentebe alabudde abatuuze okwewala ebikolwa ebiyinza okuvaako okwetingana.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/369426654778845