Kkooti enkulu mu Kampala egobye okusaba kw’abayizi ku Yunivaasite e Kyambogo, okuyimiriza amatikkira ga Yunivaasite sabiiti ejja.

Abayizi abasukka mu 200, baddukidde mu kkooti enkulu akawungeezi k’olunnaku Olwokubiri nga 14, Ogwomwenda, 2021, nga bagamba bakooye ejjoogo, Yunivaasite okutekateeka amatikkira ag’e 17 nga tebaliiko.

Amatikkira g’omulundi guno, gakubeerawo mu ngeri ya ‘Science’ wakati mu kulwanyisa Covid-19, okuva sabiiti ejja ku Lwokubiri nga 21, okutuusa ku Lwokuna nga 23 omwezi guno Ogwomwenda, 2021.

Wabula abayizi, bagamba nti kiswaza, Yunivaasite okufulumya ‘List’ y’abayizi abageenda okutikkirwa, nga tekuli mannya gaabwe ate nga baatuukiriza ebisaanyizo byonna.

Abamu ku bayizi basobeddwa

Mu kkooti nga bakulembeddwamu munnamateeka waabwe Ronald Bwire, baasabye kkooti okuyimiriza amatikkira okutuusa ng’amannya gaabwe, gateekeddwa ku ‘List’ y’abayizi abagenda okutikkirwa.

Yunivaasite y’e Kyambogo ebadde ekulembeddwamu munnamateeka Baguma Cyrus wabula omulamuzi omukulu Dr. Flavian Zeija agobye omusango gw’abayizi era amatikkira, galina okugenda mu maaso.

Dr. Flavian Zeija mu kkooti

Omulamuzi Dr. Zeija agambye nti obujjulizi bw’abayizi, bulimu ebirumira nga kizibu okubwesigamako nga y’emu ku nsonga lwaki omusango gugobeddwa.

Ensalawo ya kkooti, ewadde abakozi ku Yunivasite essanyu era okusinzira ku mwogezi wa Yunivaasite e Kyambogo Reuben Twinomujuni, tewali ngeri yonna abayizi abatono gye bayinza okulemesa abayizi abangi okutikkirwa.

Twinomujuni abadde mu nseko olw’omusango okugobebwa, agambye nti abayizi abamu baagwa ebigezo nga kiswaza okuddukira mu kkooti okulemesa banaabwe okutikkirwa.

Reuben Twinomujuni

Ate munnamateeka w’abayizi Bwire, ku bivudde mu kkooti agambye nti abayizi kati ye ssaawa okufuna ku ssente.

Bwire agamba nti singa kizuulwa nti omuyizi yenna alina ebisaanyizo kyokka nga tali ku ‘List’ y’abayizi abagenda okutikkirwa, Yunivaasite y’e Kyambogo erina okusasulira ebiseera bye olw’okumulemesa okutikkirwa.

Munnamateeka Bwire ng’ayogerako eri abayizi

Mungeri y’emu agambye nti kkooti erabudde nti okuyimiriza amatikkira mu kiseera kino, kigenda kutaataganya nteekateeka za Yunivaasite kyokka abayizi basobola bulungi nnyo okulinda omwaka ogujja ogwa 2021 okutikkirwa.

Ate bbo abayizi nga bakulembeddwamu Guild Pulezidenti we Kyambogo John Mbaziira, agamba nti, bakyalina okulwana okutuusa ng’abayizi bonna bafunye obwenkanya.

Mbaziira agamba nti enteeseganya zikyagenda mu maaso wakati w’abayizi ne Yunivaasite kyokka singa balemwa okukaanya, abayizi bayinza okuddukira mu kkooti ejjulirwamu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/282853883356703