Wakati mu ssanyu, munnamawulire wa NBS Canary Mugume abotodde ekyama lwaki yakubye empeta muganzi we Fiona Nagirinya amanyikiddwa nga Sasha Ferguson.

Shasha mukyala wa Canary


Olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga nga 18, Ogwomwenda, 2021, Canary ne Sasha baakubye ebirayiro by’obufumbo mu maaso ga Pasita Robert Kayanja ku Rubaga Miracle Centre Cathedral, Kampala.

Omukwano guli mu ggiya nnene

Wabula Canary asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga ensi lwaki yabadde alina okukuba Sasha empeta.
Canary agamba nti yawasizza Sasha kuba mukwano gwe nnyo ate muwala mulungi nnyo, “Married my Best Friend. She’s so beautiful“.

Ebikwata ku Canary!
Canary Mugume yazaalibwa nga 7, Janwali, 1995 era mu kiseera kino alina emyaka 26. Alina diguli mu Bachelor of Information Technology, munnamawulire okuva 2013 okutuusa olwaleero ku NBS TV.
Canary mwana nzalwa okuva e Mbarara, Uganda. Yasomera ku Mbarara Municipal Primary School, oluvanyuma yagenda ku Mbarara Secondary School ne Lutembe International School mu secondary.
Yafuna diguli mu information technology and computer engineering okuva ku International University of East Africa. Alina satifikeeti mu TV Production okuva mu U.S. Agency for Global Media.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/3117402215205607