Taata myaka 45 akwattiddwa ku misango gy’okudda ku mwana we, namusobyako ssaako n’okumutikka olubuto mu ssaza lye Ogun mu ggwanga erya Nigeria.
Taata Olaoluwa Jimoh akanudde ebikalu ng’atwalibwa ku Poliisi wakati mu kusakaanya okuva mu batuuze.
Omwana ali mu gy’obukulu 19 agamba nti kitaawe okuva mu Gwomukaaga 2021 abadde amusobyako era abadde yamusuubiza okumutta singa ategezaako omuntu yenna.
Wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti kitaawe abadde yamufuula mukyala we nga buli kiro basula bombi, nga buli wiiki, balina okumusobyako wakati w’emirundi 4 kwe 5.

Agamba nti nnyina yanoba olw’obutakaanya wakati we ne kitaawe era nga bakyali bato, abadde abeera ne nnyina.
Wabula emyaka 2 egiyise, kitaawe yamusaba okuggya okubeera bombi kyokka yatandika mpolampola okumukwatirira n’okumuwaana nga bwakuze.
Omwana agamba nti kitaawe yamusobyako omulindi ogwasooka, yamusaanga mu kinaabiro ng’anaaba era okuva olwo, abadde amusuubiza okumutta singa ategezaako omuntu yenna.
Agamba nti abadde yagumira embeera kyokka olwafunye olubuto, kwe kuddukira Poliisi okuyambibwa okutuusa kitaawe lw’akwattiddwa.
Ku Poliisi, abadde mu kulukusa amaziga era kitaawe ekkiriza okudda ku mwana we okumusobyako wabula agambye nti gabadde maanyi ga sitaani.
Wabula addumira Poliisi mu kitundu ekyo, Ode Remo agambye nti taata aguddwako emisango gy’okusobya ku mwana era essaawa yonna wakutwalibwa mu kkooti.
Ate wano mu Uganda, abakulembeze mu disitulikiti y’e Kalungu basobeddwa olw’omuwendo gw’abaana abawala abenyongedde okufuna embutto ku myaka emito.
Okusinzira ku Dr Daniel Ssentamu, akulira ebyobulamu mu disitulikiti y’e Kalungu, abaana abafuna embutto beyongedde wakati w’emyaka 10 – 19 nga kivudde ku nsonga ezenjawulo omuli abaana obutagambwako.
Dr. Ssantamu agamba nti embeera eyo, evuddeyo n’abaana abaggyamu embutto okweyongera ekivuddeko bangi okulwala, okuvunda mmunda, ekyongedde okutabula abakulembeze.
Kigambibwa bukya omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni aggala amassomero wakati mu kulwanyisa Covid-19, abaana abasukka mu 4,000 mu disitulikiti y’e Kalungu bafunye embutto.
Wabula Kansala omukyala akiikirira abavubuka ku lukiiko lwa disitulikiti Sharifah Kajumbi, awanjagidde abazadde okusomesa abaana enkola ey’ekizaala ggumba.
Kansala Kajumbi agamba nti okutangira abaana okufuna embutto, abazadde bateekeddwa okwenyigira ennyo okusomesa abaana akabi akali mu kwegatta ku myaka emito ssaako n’okubalaba ebirungi ebiri mu kweyambisa enkola ey’ekizaala ggumba.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=kZyJkGRfZ7o