Kyaddaki omugagga Francis Onebe myaka 63 omutuuze we Munyonyo atwaliddwa mu kkooti e Makindye ku misango gy’okutta mukazi Mary Immaculate Onebe.
Immaculate Onebe yali yabula emyezi, egisukka munaana (8) kyokka omulambo gwe gwannyuluddwa mu kinnya kya kazambi mu maka gaabwe sabiiti ewedde.

Amaka, gasangibwa mu zzooni ya Mawanga e Munyonyo mu Munisipaali y’e Makindye, era okuzuula omulambo gw’omukyala, mu kinnya kya kazambi, kyalese bangi ku batuuze, aba famire ssaako n’ebitongole ebikuuma ddembe nga basobeddwa.
Immaculate Onebe, ye yali akulira kkampuni ya Pentagon Security Ltd e Kisaasi eya bba Onebe, era ensonga lwaki yattibwa, temanyikiddwa.
Omugenzi era yali maneja mu kkampuni ya Price & Kings Audit Consultancy nayo ya Onebe.
Wabula simbiddwa mu kkooti y’omulamuzi asookerwako e Makindye Basemera Sarah Ann era aguddwako emisango gy’obutemu ng’ali wamu ne Asikaali Bonny Oriekot myaka 26.

Onebe ne Asikaali Bony basindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 30 omwezi guno Ogwomwenda.
Omukyala Immaculate Onebe yaziikiddwa akawungeezi k’olunnaku Olwomukaaga ku kyalo Abalanga mu disitulitikiti ye Kaberamaido oluvanyuma lwe ndagabutonde emanyikiddwa nga DNA okulaga nti ye mutuufu eyattibwa.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Lydia Nakato, Onebe, Asikaali Bonny n’abalala abakyaliira ku nsiko, mu Janwali 2021, mu zzooni y’e Mawanga, benyigira mu kutta omukyala Immaculate Onebe.

Mu kkooti, Onebe ne Asikaali Bonny tebakkiriziddwa kwogera kigambo kyokka kuba bali ku misango gya nnagomola.
Nakato agamba nti bakyanoonyereza, ekiwaliriza omulamuzi okwongezaayo omusango okutuusa nga 30 omwezi gunno Ogwomwenda, 2021 n’okusindika abakwate ku limanda e Kitalya.
Ku kkooti, emmotoka ya Poliisi okuva ku kitebe, ekinoonyereza ku misango mu ggwanga e Kibuli ekika kya ‘Double Cabin’ nga Njeru, batuuse nga zigenda mu ssaawa 6 ez’omutuntu.
Onebe abadde ayambadde masiki enzirugavu, siripa nzirugavu, essaati ya Blue omukwafu ssaako ne essuuti ya Bulaaka.

Onebe ateekeddwa mu kaduukulu ka kkooti okumala essaawa esukka mw’emu (1) olwa kkooti okubaako emirimu gyekola, oluvanyuma atwaliddwa mu maaso g’omulamuzi okumusomera emisango gye.
Wabula bw’abadde asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya, Onebe asobodde okweyambisa munnamateeka we Moses Ingura okutegeeza kkooti nti mulwadde nga mu kkomera yetaaga engeri yenjawulo ey’okufuna obujanjabi.

Omulamuzi alagidde ekitongole ky’amakkomera okuwa Onebe obujanjabi obwetaagisa.
Bya Nakaayi Rashidah