Omuyimbi Rema Namakula alaze nti mu bulamu bwe, musanyufu nnyo olw’okufuna omusajja ategeera omukwano Dr. Hamzah Ssebunya.
Rema abadde takyawulikika okutuusa wiiki ewedde okuva ku Lwokutaano, amawulire okutandiika okutambula nti yazaalidde Dr. Hamzah omwana.
Okuva wiiki ewedde, bangi ku bannayuganda n’okusingira ddala abali ku mikutu migatta bantu omuli Face Book ne Instagram babadde balinda Rema, okuvaayo okwogera ku nsonga ezo oba okulaga ensi omwana.
Wabula Rema asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okulaga nti ye ali mu ssanyu tali ku bigambo by’abantu.
Ku Ssande, yasobodde okuteekayo vidiyo ng’ayimba oluyimba lwe ne Chike ssaako ne DJ Harold omukozi ku 100.2 Galaxy FM olwa Loco.
Mu luyimba, Rema yabadde ayimba ekitundu ekisinga okumunyumirwa ng’omukyala, ” This thing with you and I, aah
Nkwagala nnyo walaayi
I promise to be loving you
Me ah de keep for you
Our love is so true
No be butterfly, it’s you
Ndi mu love
Ate mu love teba control
Ndi mu buwambe nnunula
Omukwano gwo ky’ekifunguo
Kifunguo, kifunguo ooh
Your love make me loco
Ah go turn in myself to the popo (oh oh)
Teriba eddogo
‘Cause see boy you love got me loco, loco
Your love make me loco
Ah go turn in myself to the popo (oh oh)
Your love make me loco
Ah go turn in myself to the popo”.
Wadde yabadde ayimba n’okulaga essanyu lye, omu ku bawagizi be yagambye nti yawulidde nti yazadde era yabadde asaba okufuna okudibwamu, “Levi_harrisson_junior – I heard u gave birth“.
Ate “Fatisah6 – Naye nakawele otuvuga supidi banange”.
Ate olunnaku olw’eggulo ku Mmande, Rema yatadde ekifaananyi ku Instagram, kyokka abawagizi n’okutuusa kati tewali amanyi kituufu oba bituufu yazaalidde Dr. Hamzah omwana.

Alanz_oscar – I heard rumors that she’s pregnant wabula Uncut.
Ebiriwo biraga nti wadde ye ne bba Dr. Hamzah balina entekateeka zaabwe, abawagizi bagamba nti Rema alina okuzaalira omusajja omwana.
Yayanjula bba Dr. Hamzah mu bazadde mu November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka kyokka n’okutuusa olunnaku olwaleero, alina omwana omu, gwe yazaala mu muyimbi Eddy Kenzo eyali bba emyaka egisukka 5.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/406967277669775