Katembe abadde mu kkooti e Kenya mu kibuga Nairobi, omulenzi ali mu gy’obukulu 13 bw’alambuludde engeri gy’abadde asinda omukwano n’omukyala omukozi w’awaka ali mu gy’obukulu 32 okumala ebbanga lya myezi munaana (8), ekirese abazadde nga bali mu maziga.

Omukyala omukozi w’awaka amanyikiddwa nga VNW yakwatibwa ku misango gy’okusobya ku mulenzi omuto ssaako n’okulaga omwana vidiyo z’obuseegu ku massimu ag’enjawulo.

Mu kkooti, omulenzi aleeteddwa okuwa obujjulizi wabula ebigambo bye, birese kkooti ewuninkiridde.

Agamba nti tewali yamukaka kwegata na mukozi w’awaka nga yakikola, akyagala era omukozi, yasobola okumutendeka n’okumulaga eky’okukola.

Omulenzi agamba nti yegatta n’omukozi omulundi ogwasooka mu Gwomusanvu omwaka oguwedde ogwa 2020.

Mu kkooti, agambye nti buli wiiki nga bakikola emirundi 3 kwe 4 wakati w’essaawa 7 ku 10 ez’emisana  mu nnaku ez’enjawulo nga bakikolera mu ffumbiro, mu ddiiro ne mukiyigo ng’omu ku bo agenze okunaaba.

Omulenzi era agambye nti omukozi yamusaba okukikuuma nga kyama obutabaako muntu yenna gwategeeza.

Agamba obudde obw’ekiro, yamutwalanga mu fumbiro okwegatta mu kiseera ng’abazadde bebase era byonna yabikolanga ali mu ssanyu.

Omulenzi ayongedde okusanyalaza kkooti, agambye nti abadde atwala essimu ya muganda we okulaba vidiyo z’obuseegu, eziyinza okumuyamba okutegeera kyayinza okukola ng’ali n’omukozi.

Agamba nti vidiyo, zibadde zimuyambako okufuna obwagazi n’okusingira ddala ekiro ng’abazadde bagenze okwebaka era omukozi abadde amutwala mu kinaabiro.

Bw’abuziddwa oba omukozi abadde amukaka okukikola, omulenzi agambye nti nedda wabula agamba nti omukozi yamusaba okukikomya kyokka abadde anyumirwa era y’emu ku nsonga lwaki baludde nga bakikola.

Omulenzi era asabye kkooti omukozi okumugyako emisango nti yamusobyako kuba buli kyabadde akola, abadde anyumirwa nga tewali amukase wabula okusuubiza okuloopa omukozi mu bazadde nti abadde amusobyako singa agaana okuddamu okwegatta, y’emu ku nsonga lwaki baludde nga berigomba ebbanga erisukka mu myezi munaana (8).

Ate abazadde nga batuuze ku kyalo Mwiki mu bitundu bye Sasarani e Nairobi, basigadde basobeddwa era maama akulukuse amaziga olwa mutabani we okulaga nti abadde musanyufu nnyo kwebyo, ebigenda mu maaso wakati we ssaako n’omukozi.

Maama agamba nti okusanga mutabani we ng’alaba vidiyo ez’obuseegu ku ssimu ne bamuyisaamu empi ne kibooko, kyabayamba okuzuula ebyama wakati w’omutabani n’omukozi.

Omukozi ali mu gy’obukulu 32 kkooti yamukkiriza dda okweyimirirwa era emisango ali mu kwewozaako ng’ava waka.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/406967277669775