Bambega b’ekitongole kya Poliisi ekya Crime Intellige bakutte abawala 202 nga kigambibwa waliwo Kampuni ebadde ebatwala mu nsi z’ebweru, okufuna emirimu.
Abawala bali wakati w’emyaka 20 kwa 25, nga basangiddwa mu kisakaate e Rubaga, Kampala mu nnyumba satu.

Ku bisangiddwa mu nnyumba, babadde bateeka emifaliso wansi ku ttaka era nga buli mufaliso basulako 3 ku 4 nga buli omu asula ku munne.
Abawala, batabukidde Poliisi okubalemesa okugenda ebweru era bagamba nti embeera embi eri mu ggwanga lyabwe Uganda n’okusingira ddala mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19 nga bangi tebalina kyakulya, tebalina mirimu, y’emu ku nsonga lwaki, bavudde mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, okuddukira mu nsi z’ebweru okunoonya emirimu.

Bagamba nti babadde mu mbeera nnungi wadde babadde basula bangi mu nnyumba naye mukama waabwe abadde abalabirira bulungi.
Abamu ku bawala abagaanye okwatuukiriza amannya gaabwe, bagamba nti basomesa batendeke kyokka bukya omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni aggala amassomero, bali mu mbeera mbi.
Abamu bagambye nti balina famire omuli n’abaana nga balina okugenda ebweru, okunoonya emirimu kuba mu Uganda tebafiiriddwako.
Waliwo abakaabye era bagambye nti Poliisi etutte ebintu byabwe omuli amassimu kyokka okuva mu kiro baabalemesezza okwebaka.

Wabula ssentebe w’ekyalo Lusaze Omulangira Kiyimba agamba nti wadde yategeezebwako nti mu nnyumba mulimu abantu abagenda mu nsi z’ebweru, abadde takkirizibwa kuyingira mu nju okwekeneenya embeera.
Kiyimba agamba nti, “bampa ebbaluwa nti basuzaamu abaana bebatwala ebweru naye ebyembi nange tebanzikiriza kuyingira munda nti baana bawala nze omusajja okubayingiramu, ebbaluwa bagimpa emyezi egisukka munaana, abaana babadde basula bubi nnyo era embeera ya nsolo, akikoze, abadde ng’akuuma embizzi“.

Ate Luke Owoyesigyire amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agambye nti “ennyumba emu ebaddemu abawala 85, ennyumba endala 60 nga n’endala 57. Tusaanze nti babeera mu mbeera mbi nga basula mu mugoteko mu budde buno ogwa Covid-19 naye kyetukakasa Kampuni ebadde ebatwala erina olukusa okutwala abantu ebweru naye embeera gye babadde bayisaamu abaana abatwalibwa si nnungi, Kampuni bagiyita Strepa Inernational e Rubaga. Mu kiseera kino tulina Direkita waabwe omu Ssekayiba Emmanuel ate abalala abasatu Ssemanda Faizal ne Tinyefunza Lubibi bakyaliira ku nsiko. Ekirala abamu babadde bamazeewo emyezi egisukka 3, abalala nnaku 2, abamu wiiki 3”.
Owoyesigyire era agamba nti okunoonyereza okuzuula ekituufu kutandikiddewo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/2727277407565717
Bya Nalule Aminah