Kkooti  eyise akulira ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine yeewozeeko ku musango munnamateeka Male Mabirizi gweyamuwaabidde nga amuvunaana okwegatta ku Yunivaasite y’e Makerere mu bukyamu.

Bobi Wine ayitiddwa ku kkooti ya Law Development Centre (LDC) mu Kampala.

Okusinzira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa omulamuzi wa kkooti esookerwako Augustine Alule, Bobi Wine alina okweyanjula mu kkooti mu October, 7, 2021 mu biseera by’okumakya ku ssaawa 6, okuddamu emisango.
Omulamuzi okuyita Kyagulanyi, kidiridde Mabirizi okusaba kkooti okumuyita kuba alina obujjulizi.

Wine ne Male Mabirizi

Akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande, Mabirizi yasaba kkooti okuyita Bobi Wine mu kkooti yewozeeko.

Bobi Wine yatikkirwa ku yunivaasite e Makerere emyaka egisukka 20 Diploma mu kuyimba, okuzina ne katemba (Music, Dance and Drama-MDD) wabula Mabirizi yamutwala mu kkooti.

Munnamateeka Mabirizi agamba nti tekisoboka kuba nga Bobi Wine yaweebwa  ekifo asome dipulooma ya MDD mu October, 21 2000  ku nteekateeka y’abakulu kyokka nga yalina emyaka 20 gyokka.

Mu kkooti, Mabirizi agamba nti alina obujjulizi okuva eri Alfred Namoah Masikye akulira eby’okusoma ku Yunivaasite e Makerere.

Masikye alaga nti mu gye 2000, omuntu yenna okuweebwa enteekateeka y’abakulu okusoma, alina okuba waggulu w’emyaka 25 oba ng’omuntu yenna yasoma kyokka nga yali awumudde emisomo okumala ebbanga lya myaka 5, ekiraga nti Bobi Wine yali tasobola kuweebwa mukisa gwonna.

Mabirizi alaga Kyagulanyi yazaalibwa nga February 12th 1980 era yasomera ku Kololo Senior Secondary School and Kitante Hill School, ekiraga nti yaweebwa eby’okusoma e Makerere mu nsoma y’abakulu ng’ali mu myaka 20.

Mabirizi agamba nti Bobi Wine alina okwewozaako kuba singa alemwa, ayolekedde okusibwa emyaka egisukka 2.

Wine musajja mufumbo era akyali ne kabiite we Barbie Kyagulanyi Itungo okuva mu 2011. Barbie yazaalibwa September 7, 1982, ng’alina emyaka 39.

Mu kulonda okuwedde, Bobi yakulemberamu ekibiina ki NUP okuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga lino era yamalira mu kyakubiri. Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni.

Wine y’omu ku basajja abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba ne Bebe Cool, Jose Chameleone, Eddy Kenzo n’abalala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/2727277407565717