Waliwo omukyala ali mu gy’obukulu 40 ku kyalo Mwiki mu bitundu bye Sasarani e Nairobi mu ggwanga erya Kenya, akubye bba omuggo, ekivuddeko okulwanagana lwa mukozi w’awaka

Entabwe evudde ku mukyala okutegeera nti omukozi w’awaka ali mu gy’obukulu 17 omwana gw’alina, mwana wa bba, ali mu gy’obukulu 45.

Kigambibwa, omukyala yasobodde okwekebejja essimu y’omukozi, era mesegi wakati w’omukozi ssaako ne bba, ziraga nti omusajja abadde asindikira omukozi ensimbi okulabirira omwana we ssaako ne mesegi ez’omukwano.

Mesegi ziraga nti omusajja abadde mu laavu n’omukozi okuva omwaka oguwedde ogwa 2020 okutuusa lwe yazadde omwezi omwana oguwedde Ogwomunaana.

Omukyala avudde mu mbeera kwe kulumba bba abadde mu kisenge era akubye omuggo, ekivuddeko ensambaggere, okulwanagana era omukozi asobodde okuyita baneyiba, okutaasa.

Omukyala agamba nti omukozi yamutegeeza nti olubuto, lwa musajja omu ku batuuze ku kitundu nga y’emu ku nsonga lwaki teyamugoba olw’omusajja okusindika obuyambi.

Wakati mu kulukusa amaziga, agambye nti yewunyiza bba okudda ku mukozi w’awaka n’okulaga ejjoogo, okuleta omukyala ow’okubiri mu makaage.

Ensonga zongedde okuwanvuwa era Poliisi eyitiddwa, omusajja akwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana omuto, n’okumuzaalamu omwana, omukyala bw’agambye nti omukozi wa myaka 17.

Wabula omukozi akubye omulanga era akoze katemba, agambye nti wakati mu kunoonya emirimu yalimba emyaka gye nti yali wa 16 wabula mukyala mukulu, wa myaka 22.

Poliisi esabye omukozi okuleeta ebbaluwa eziraga emyaka gye okusinga okudda mu kulimba.

Omukozi era agamba nti omusajja yamusuubiza ebintu bingi ddala omuli n’okumuzimbira amaka era y’emu ku nsonga lwaki baludde nga bali mu laavu ssaako n’okusirikira ekyama kyabwe.

Ate omusajja agambye nti omukyala we obutamuwa budde mu nsonga z’omu kisenge, y’emu ku nsonga lwaki yakola ensobi okudda ku mukozi w’awaka.

Alabudde mukyala we, nti wadde balina abaana bataano (5) ng’omukulu ali myaka 15, waddembe okutambulamu naye omukozi mukyala mukulu, talina wagenda.

Ate abatuuze, bawanjagidde ekitongole ekya Poliisi okuyamba ogonjoola obutakaanya obuliwo kuba singa busajjuka, buyinza okuviirako omuntu okuttibwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/2727277407565717