Poliisi etubuulidde wetuuse mu kunoonyereza ku mukyala Juliet Nassali abadde mu gy’obukulu 40, eyattiddwa ku kyalo Mende mu Tawuni Kanso y’e Mende mu disitulikiti y’e Wakiso.
Omulambo gwa Nassali gwazuulwa ku Ssande ku makya nga 19, Ogwomwenda, 2021, ekyaleka abatuuze nga bali mu kiyongobero.
Wabula Poliisi ekutte Jonah Bwambale amanyikiddwa nga ‘Master’ myaka 25 ku by’okutta Nassali, ng’amulumiriza okumusiiga siriimu.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Bwambale akwattiddwa n’abantu babiri (2), ku misango gy’okutta omuntu.
Enanga bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru, yagambye nti Bwambale n’omugenzi Nassali baali baagalana okumala ebbanga eriwera kyokka oluvanyuma baafuna obutakaanya.
Enanga agamba nti oluvanyuma lwa Bwambale okuzuula nti alina siriimu, yategeeza abamu ku batuuze nti alina okutta Nassali olw’okumusiiga akawuka.
Agamba nti oluvanyuma lwa Nassali okuttibwa, Poliisi yasobodde okweyambisa embwa ekoonga olusu era yakulembeddemu Poliisi okutuuka ku nju ya Bwambale era y’emu ku nsonga lwaki yakwattiddwa ku misango gy’obutemu.
Ate Poliisi ekutte omuntu owokusatu ku by’okutta omwana myaka munaana (8) mu disitulikiti y’e Kyotera.
Omwana Francis Kateregga yattiddwa ku ssaawa nga 4 ez’ekiro, ku Ssande ku kyalo Nakatoogo-Bikunya mu ggoombolola y’e Kabira mu disitulikiti y’e Kyotera.
Kateregga yabadde egenze wa neyiba okulaba akazannyo ku Ttiivi wabula teyakomyewo.
Omulambo gw’azuuliddwa ku Mmande ku makya mu kibira okumpi n’awaka, oluvanyuma lw’abatuuze okusimba ensiko okumala essaawa eziwera.
Abatuuze bagamba nti omwana yatemeddwa omutwe ne batwala obwongo ssaako n’okulembeka omusaayi ne bagutwala.
Bagamba nti omwana yasaddakiddwa era abazadde okuli maama Macklin Namaganda ne taata Mike Sserwadda, nga batuuze ku kyalo Kasamba-Kyamayembe mu ggoombolola y’e Kabira, bawanjagidde ekitongole ekya Poliisi okunoonyereza okuzuula abatemu, abenyigidde mu kutta mutabani waabwe.
Wabula okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Nakatoogo-Bikunya Mike Ssebuliba, mu kusooka Poliisi yakutte abasawo b’ekinnansi babiri (2) wabula ekutte omuntu ow’okusatu.
Ate Muhammad Nsubuga, omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo (bendobendo ly’e Masaka), agaanye okwatuukiriza amannya g’abantu abakwattiddwa nga kiyinza okutaataganya okunoonyereza kwabwe.