Omuyimbi Fik Fameica ali mu kutya oluvanyuma lwa vidiyo ng’ali mu laavu n’omukyala okufuluma.

Mu vidiyo eri mu kutambula ku mikutu migatta bantu omuli Face Book ne WhatsApp, mu butikitiki 10, Fik alaga nti musanyufu nnyo okuba mu laavu.

Mu vidiyo, omuwala yawadde Fik omukisa okuddamu okukwata ku bbeere era amangu ddala yamugambye nti “weweeta“.

Ng’ali mu laavu

Fik oluvanyuma lw’okukkiriza okusaba kw’omuwala, abadde aweweeta ebbeere ng’omuwala ali mu ssanyu ssaako n’enseko mu ngeri y’okulaga nti kati oli wange.

Newankubadde Fik yabadde mu laavu era vidiyo eraga nti yabadde yakava mu kaboozi n’omuwala, yabadde agezaako okukweka ffeesi ye ng’omuwala akutte essimu okukwata vidiyo okumulabisa eri ensi yonna.

Ebikwata ku muwala!
Kigambibwa omuwala ye Grace era ali mu gy’obukulu 30 kwa 40. Yafumbirwa Omuzungu emyaka egisukka mu 10 egiyise.
Kigambibwa alina omwana ali mu myaka 10.
Amawulire galaga nti Grace yayawukana n’omuzungu oluvanyuma lw’okufuna obutakaanya kyokka mbu Omuzungu amusindikira ssente ez’okulabira omwana.

Omuwala amwewadde yenna

Wakati mu kulwanyisa Covid-19 ng’abayimbi balina okunoonya ssente okwebezaawo n’okutambuza obulamu, kigambibwa y’emu ku nsonga lwaki Fik, abadde mu laavu naye okusobola okufuna ku ssente.

Lwaki Fik!
Agamba nti yazaalibwa mu January 10, 1996 era mbu alina emyaka 25. Amannya ge amatuufu ye Walukagga Shafik.
Yatandika okuyimba mu 2015 n’oluyimba Pistol wansi wa Black Man Town music label ekulemberwa omuyimbi Geosteady.

Omuyimbi Fameica


Okuva 2015, y’omu ku bayimbi abakoze obulungi n’okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba ze Skonto, Gwe Abisobola, Omu Bwati, Property, Kachima, Born 2 Win, Byenyenya n’endala.
Kigambibwa abaddeko mu laavu n’abawala abenjawulo.
Okuva omwaka 2019, ebigambo byali bitambula nti ali mu laavu n’omuyimbi Lydia Jazmine.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/403436187952212