Omuzinnyi DJ Nimrod akedde mu ggiimu olunnaku olwaleero, okwetekateeka okukuba omukizi ekiro kya leero.
Ba DJ ba 100.2 Galaxy FM bategese enkambi ku Mutima Beach mu disitulikiti y’e Mukono n’okutandiika olunnaku olwaleero September, 2021.
Enkambi yakomekerezebwa ku Ssande nga 26, September, 2021.
Mu nnaku 3, abadigize balina okuzannya emizannyo egy’enjawulo omuli Volleyball, Beach soccer, empaka z’okuwuga, okwepena, Ludo, okuvuga amaato ku nnyanja n’emizannyo emirala.
Mu nkambi etuumiddwa ‘Gateway Party’ DJ Nimrod yegatiddwako ba DJ banne nga bonna bakozi ku Galaxy FM omuli Dj Denno, Dj Harold, Dj HerBert, Dj Luidee era ku mulundi guno, entekateeka yanjawulo nnyo.
DJ Nimrod agamba nti ku mulundi guno, wakati mu kulwanyisa Covid-19, abantu bonna abagenda mu nkambi, balina okuteeka mu nkola engeri zonna ez’okutangira Covid-19 okusasaana.
Agamba abantu bonna balina okwambala masiki, ate ku Beach watekeddwawo sanitayiza.
Poliisi yakkiriza abantu 50 bokka olw’okutangira abantu abangi abayinza okutambuza obulwadde.