Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Hoima awadde essanyu bannakibiina ki National Unity Platform-NUP, basajja ba Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) bw’akkiriza okusaba kwabwe okweyimirirwa.
Aba NUP 4 baakwattibwa ku Lwokusatu ku makya nga 29, September, 2021 ku luguudo lwe Hoima Persy mu ggoombolola y’e Hoima West mu kibuga kye Hoima ku misango gy’okukuba olukungaana mu ngeri emenya amateeka.
Abayimbuddwa kuliko Hannington Kasasa myaka 24, omwogezi wa NUP mu disitulikiti y’e Hoima, Jim Mukonye 20, omuwandiisi wa NUP mu disitulikiti y’e Hoima, Collins Birungi 25 ne Favour Ssentamu 36.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, aba NUP abayimbuddwa ne banaabwe abakyaliira ku nsiko, ku Lwokusatu bakeera kusima ttaka okuteeka mu binnya ebiri mu kkubo lye Persy street emabega w’akatale k’e Hoima central market mu kibuga kye Hoima.
Poliisi oluvanyuma lw’okufuna amawulire, yatuuka mu kifo era bangi badduka ne bakwatako abantu 4 bokka.
Okuva ku Lwokusatu, babadde ku kitebe kya Poliisi e Hoima okutuusa akawungeezi ka leero ku Lwokutaano lwe batwaliddwa mu kkooti y’omulamuzi asookerwako e Hoima.
Mu kkooti y’omulamuzi Winnie Nankya, baguddwako emisango gy’okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okutambuza ekirwadde ki Covid-19 kyokka emisango gyonna bagyegaanye.
Bonna 4 basabiddwa ssente shs 500,000 ezitali za buliwo okweyimirirwa buli omu ssaako n’ababeyimiridde shs 1,000,000 buli omu ezitali za buliwo.
Balagiddwa okudda mu kkooti, nga 8, November, 2021 okuddamu okubasomera emisango.
Oluvanyuma lw’okuyimbulwa Hannington Kasasa agambye nti tebagenda kutisibwatiisibwa Poliisi kuba abakulembeze mu kitundu kyabwe ne Gavumenti balemeddwa okubakolera oluguudo.
Ate abasawo mu disitulikiti y’e Luweero balabudde abazadde okulambika abaana baabwe akabi akali mu kwegadaanga, okusinga okulinda abaana abawala abato okufuna embutto.
Okusinzira kw’alipoota ya disitulikiti ey’omwaka 2020 – 2021, abaana abawala abasukka mitwalo 8, begumbulidde okweyambisa enkola ey’ekizaala ggumba, okwetangira okufuna embutto.
Alipoota eraga nti buli mwezi abaana abali mu 7,000 wakati w’emyaka 10 – 19, baddukira mu malwaliro, okufuna ebiyinza okubatangira okufuna embutto wakati w’emyezi 3 n’emyaka 5.
Dr. Innocent Nkonwa, nga yakulira ebyobulamu mu disitulikiti y’e Luweero, agamba nti ekikolebwa abaana ku myaka emito okwetanira enkola ezibatangira okufuna embutto, kabonero akalaga nti okwegatta ku baana abato kweyongedde mu kitundu kyabwe mu myaka emito.
Mungeri y’emu agamba nti wadde bangi bajjumbidde okwetangira, abaana 16,163 bafunye embutto, wakati mu kulwanyisa Covid-19.
Ate Florence Kyeswa, omusomesa ku nkola ey’ekizaala ggumba mu disitulikiti y’e Luweero, agamba nti buli wiiki, bafuna abaana abasukka 50, okuweebwa ebiyinza okubatangira okufuna embutto.
Agamba nti abalenzi okulemerako nga betaaga omukwano ssaako n’abasajja abakulu, y’emu ku nsonga lwaki abaana abawala, bajjumbidde okuddukira malwaliro, okunoonya ebiyinza okubataasa okufuna embutto.
Mungeri y’emu awanjagidde abazadde, okunoonyereza okutegeera ensonga eziyinza okubasindikiriza (abaana) okwegatta ku myaka emito.