Poliisi mu Kampala etandiise okunoonya abatemu abaalumbye abatuuze okwagala okubatta.
Aisha Nakitende myaka 48 n’omukozi we Olivia Namatovu myaka 23 bali mu mbeera mbi, oluvanyuma lw’okulumbibwa abatemu abatamanyiddwa.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Asp Luke Owoyesigyire, ku ssaawa nga 11 ez’okumakya, mu Nswa Zzooni, mu Divizoni y’e Makindye mu Kampala, Nakitende ne Namatovu babadde bweru nga bakola mirimu gyabwe, abatemu abatamanyiddwa mu kiseera kino kwe kubalumba.
Bonna bafumitiddwa emirundi egiwera era batwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago ne Malcom Clinic e Kibuye nga bali mu mbeera mbi.
Poliisi egamba nti eguddewo omusango gw’okugezaako okutta abantu era okunoonyereza kutandikiddewo.
Ate abatuuze basabye Poliisi okunoonya abatemu kuba singa badduka, bayinza okuddamu okulumba mu kitundu kyabwe.
Ate Poliisi y’e Kabale etandiise okunoonyereza ku ngeri ssemaka Twikyirize Milton myaka 55 gy’atiddwamu.
Milton abadde mutuuze ku kyalo Nyakabungo cell mu ggoombolola y’e Mwanjari mu disitulikiti y’e Kabale.
Kigambibwa olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga nga 16, October, 2021, Mwanjari yavudde awaka ku makya okugenda ku mulimu nga buligyo okusinzira ku mukyala we Barigye Mary wabula teyakomyewo okutuusa enkya ya leero nga 17, October, 2021 ku ssaawa 1 ey’okumakya, omulambo gw’omusajja guzuuliddwa ku kyalo Rwamukundi cell e Mwanjari mu disitulikiti y’e Kabale.
Amangu ddala Poliisi eyitiddwa era abantu bagiddwako sitetimenti.
Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, agamba nti omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kabale okwekebejjebwa.
Maate mu ngeri y’emu asabye abatuuze balina amawulire ku by’okutta Milton, okukolagana ne Poliisi okuzuula abatemu.