Ekitongole kya Poliizi kizzeemu okuvaayo ku nsonga za Bulooka Fred Lumbuye.
Lumbuye yali yakwatibwa mu ggwanga erya Turkey ku misango egy’enjawulo wabula yayimbuddwa ku Mmande nga 18, October, 2021.
Okusinzira ku Minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga ku ludda oluvuganya era omubaka wa Palamenti e Kyadondo East Muwada Nkunyingi, Lumbuye abadde mu kkomera ly’abagwira erimanyiddwa nga KOCAEL Foreigers Detention center.
Nkunyingi agamba nti Lumbuye abadde ku misango egisukka 40 omuli okusasaanya amawulire g’obulimba ku mikutu migatta bantu.
Agamba nti Lumbuye wadde yayimbuddwa, bannamateeka bakola kyonna ekisoboka okugibwako emisango.
Wabula ne Poliisi ya Uganda evuddeyo ku nsonga za Lumbuye.
Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti Lumbuye alina emisango era Poliisi ekyamwetaaga okwewozaako.
Mu Uganda, Lumbuye ali ku misango gy’okutambuza amawulire ag’obulimba era ku mikutu migatta bantu omuli Face Book omuli n’okubika abantu nti bafudde omuli n’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.
Ate Poliisi mu Kampala ekutte abantu 68 mu kikwekweeto ekikoleddwa mu Kampala wakati.
Ekikwekweeto kikoleddwa mu Kisenyi n’omwala gwe Nakivubo enkya ya leero ku Lwokusatu, abasirikale okuva ku Poliisi ya Kampala mukadde ne Central Police stations (CPS) Kampala.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, abasuubuzi baludde nga bemulugunya ku babbi ku mwala gwe Nakivubo ne mu Kisenyi emisana.
Ababbi banyakula ensawo z’abakyala, amassimu ne bayingira omwala.
Owoyesigyire agamba nti ku bakwate 68, 10 batwaliddwa ku CPS mu Kampala ate 58 ku Kampala mukadde.
Joseph Kyeyune nga mutuuze we Nakulabye addukidde ku Poliisi ya Kampala mukadde okuyambibwa oluvanyuma lwa babbi okutwala ebintu bye, bwe yali mugoteko gw’ebidduka okumpi n’essomero lya Aghan mu Kampala bwe yali ava mu bitundu bye Entebbe mu September 26th, 2021.
Mu sitetimenti ku Poliisi, Kyeyune agamba nti ababbi baasobola okweyambisa amayinja okwasa endabirwamu y’emmotoka ye ne batwala ensawo eyalimu ssente obukadde busatu (3) ne batwala n’amassimu gonna.
Wiiki ewedde, Poliisi y’e Katwe yakoze ekikwekweeto mweyakwatidde abantu 58 abagambibwa okutigomya abatuuze omuli n’okumenya amayumba mu bitundu bye Makindye.
Ekikwekweeto kyakoleddwa mu bitundu bye Masaja, Salaama, Mutundwe ne Bunamwaya sabiiti ewedde ku Lwokuna.
Poliisi yazudde ebintu ebyenjawulo omuli enjaga.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=xp3gG_VZEgU