Kkooti enkulu e Masaka egaanye okuyimbula bannakibiina ki National Unity Platform (NUP), Muhammad Ssegirinya omubaka we Kawempe North ssaako ne Allan Ssewanyana owa Makindye West.
Bano nga bali ku misango omuli egy’obutemu, okulya mu nsi olukwe, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju ssaako n’okugezaako okutta abantu mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021, ekyaleke abasukka 20 nga battiddwa, bakulungudde ebbanga, erigenda mwezi ebbiri (2) nga bali ku limanda mu kkomera e Kigo.
Wabula oluvanyuma lw’okuddamu ne bakwattibwa omwezi oguwedde ku misango gy’obutemu amangu ddala nga bayimbuddwa, baddamu okuddukira mu kkooti enkulu e Masaka, okusaba okuddamu okweyimirirwa.
Wabula mu kkooti enkya ya leero, omulamuzi Lawrence Tweyambe agobye okusaba kwabwe, ekirese bannamateeka baabwe nga bakulembeddwamu Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago nga bawuninkiridde.
Omulamuzi Tweyambe, agambye nti singa bayimbulwa, basobola okweyambisa obuyinza bwabwe ng’abakiise ba Palamenti, okutataaganya okunoonyereza.
Mungeri y’emu agamba nti bali ku misango gya nnagomola nga singa bayimbulwa, bayinza okudduka mu ggwanga ate wadde balwadde, amakkomera okuli Kigo ne Luzira, basobola okubajanjaba.
Mu kkooti, basobodde okweyambisa enkola eya ‘Zoom’ era Ssegirinya asinzidde ku limanda e Luzira ate Ssewanyana mu kkomera e Kigo.
Oluvudde mu kkooti, munnamateeka Lukwago agamba nti ensonga z’omulamuzi, temuli ggumba okulemesa okuyimbula abantu be.
Mungeri y’emu agambye nti balina okweyambisa enkola z’amateeka okutaasa abantu be.
Lukwago alangiridde nti bagenda kujjulira okusobola okufuna amazima n’obwenkanya.
Ssegirinya ne Ssewanyana okusigala mu kkomera, kyongedde okunyigiriza famire zaabwe n’okusingira ddala abakyala abali mu maziga mu kiseera kino ssaako n’okunoonya ssente okutambuza amaka.
Okuva sabiiti ewedde, bakyala ba Ssegirinya okuli Twahira Akandinda ne Nanfuka Fatuma bali mu kulajjana okusaba okuyimbula bba.
Bano bagamba nti wadde Ssegirinya ali mu kkomera, talina misango era Nanfuka yasaba Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuyamba okusonyiwa bba.
Ate ssaabawandiisi w’ekibiina ki NUP David Lewis Rubongoya agamba nti omulamuzi okugoba okusaba kwa Ssegirinya ne Ssewanyana, kabonero akalaga nti bazinira ku ntoli za Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Rubongoya ng’asinzira ku kitebe ky’ekibiina e Kamwokya enkya ya leero, awanjagidde abalamuzi okwesima ku nkola y’amateeka okusinga okozesebwa Pulezidenti Museveni.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=W7WLow-v-C0