Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement- NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ayingidde mu nsonga z’okusika omuguwa wakati wa Ssaabaminisita Rt. Hon Robinah Nabbanja ne Minisita w’ebigwa tebiraze n’ababundabunda Eng. Hilary Onek.
Sabiti eno, Minisita Onek yafulumizza ekiwandiiko nga yemulugunya ku ntambuza y’emirimu egya Ssaabaminisita Nabbanja.
Min Onek agamba nti Ssaabaminisita Nabbanja asukkiridde okweyingiza mu mirimu gya offiisi ye, okumuyisaamu amaaso ssaako n’abakozi mu offiisi ye, ekintu ekiyinza okusanyalaza ebyentambula y’emirimu.
Agamba nti Nabbanja okugenda mu bifo by’abantu abakoseddwa, mu nkambi za babundabunda, kabonero akalaga nti yatwala emirimu gye, ekintu ekyobuswavu.
Minisita Onek yatiisizza okulekulira singa mukama we Nabbanja teyeddako mu ntambuza y’emirimu kuba akooye okumuyisaamu amaaso.
Wabula okusinziira ku nsonda ezesigika, Pulezidenti Museveni alonze munnamaggye omumyuka we Maj (rtd) Jessica Alupo okutabaganya Ssaabaminisita Nabbanja ne Minisita Onek.
Amawulire galaga nti Alupo ategese olunnaku olw’enkya ku Lwokuna, okubatabaganya okusinga okulinda embeera okusajjuka.