Bannakibiina ki National Unity Platform -NUP bataano (5) abaakwattiddwa mu disitulikiti y’e Kasese baguddwako emisango gy’okutekateeka okuwamba Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Aba 5 bagiddwa ku kyalo Kamaiba Lower mu ggoombolola y’e Kamaiba mu Monicipaali y’e Kasese.
Poliisi egamba nti basajja ba Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) abakwate kuliko Bryan Basisa, ssentebe wa NUP e Kasese, Geoffrey Bwambale, omukwanaganya w’emirimu mu kibiina ki NUP e Bundibugyo, Atanazio Isanat okuva mu disitulikiti y’e Ntoroko, Isaac Mumbere, eyali akutte kaadi y’ekibiina ki NUP mu ggoombolola y’e Nyamwamba e Kasese mu kulonda okuwedde ne Oniz Kule ng’avuga bodaboda mu katawuni k’e Hima.
ASP Ismail Kaawo, akola ng’omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwenzori East, agamba nti abakwate bali ku misango gy’okuwamba Gavumenti ya Pulezidenti Museveni.
Agamba nti baasangiddwa n’ebiwandiiko ebikunga abantu okwekalakaasa.
ASP Kaawo era agamba nti waliwo n’ebiwandiiko ebirala, ebiri mu kwekeneenyezebwa ebitongole byokwerinda era essaawa yonna abakwate babatwala mu kkooti.
Emmanuel Kirunda, munnamateeka w’abakwate agamba nti okuva ku Lwokubiri, Poliisi ekyabalemesezza okulaba ku bantu baabwe.
Kirunda agamba nti mu kiseera kino ali wamu n’abakulu mu kibiina, okuyamba okulaba nti abakwate, baddamu okufuna eddembe lyabwe.
Samuel Masereka, omuwandiisi wa NUP e Kasese agamba nti emisango egivunaanibwa abantu baabwe, kigendereddwaamu okusiiga ekibiina enziro.