Kyaddaki ssentebe wa LC 5 mu disitulikiti y’e Kalungu Ahmed Nyombi Mukiibi yetoonze ku by’okunyiiza abasiramu ssaako n’okuvvoola eddiimu ly’obuyisiraamu.
Ssentebe Mukiibi, akawungeezi k’olunnaku Olwomukaaga, yenyigidde mu kuwa abatuuze embizzi mu ntekateeka ya Gavumenti ey’okulwanyisa obwavu eya Operation Wealth Creation.
Ssentebe Mukiibi ng’asinzira ku kitebe kya disitulikiti ku kyalo Kaasabale, wadde musajja musiramu, yenyigidde mu kutikkula embizzi ku mmotoka ng’azikutte amatu wakati mu ssanyu ng’azikwasa abatuuze mu kitundu kye.
Wadde yabadde mu ssuuti, embizzi zabadde zikaaba nnyo ssaako n’okusamula obwoya wabula byonna, byamuwadde essanyu ssaako n’abatuuze, wakati mu kusakaanya nti ssentebe agikuteko.
Embeera eyo, yawaliriza abakulu mu ddiini y’obuyisiraamu mu disitulikiti y’e Kalungu nga bakulembeddwamu Disitulikiti Kadhi Sheikh Badru Wasajja Kiruuta, okutabukira ssentebe Mukiibi.
Bano bagamba nti Ssentebe Mukiibi yakoze kivve n’okujooga eddiini y’obuyisiraamu nga yandibadde afuna omukulembeze nga si musiraamu, okumuyambako okuwa abatuuze embizzi.
Wabula Mukiibi agamba nti obutamanya bingi ku ddiini, y’emu ku nsonga lwaki yakulembeddemu okuwa abatuuze embizzi.
Mungeri y’emu agambye nti yetoonze olw’abakulu mu ddiini okumutegeeza n’okumulaga ensobi oluvanyuma lw’okukwata ku mbizzi.
Ate Ssemaka akubye omulanga bw’azze engulu nga mukyala we, amusaze ebitundu by’ekyama nga kusigaddeko, akaliba katono, omukulu akutukeko.
Tugumisiriza Benon myaka 45 nga musajja musuubuzi era mutuuze ku kyalo Bikurungu mu disitulikiti y’e Rukungiri yasigadde maziga.
Kigambibwa ye n’omukyala Kobusingye Milly myaka 40 baludde nga balina obutakaanya, ng’omukyala alumiriza bba, okuwasa omukyala w’okubiri.
Wabula ekiro ku ssaawa nga 5, omukyala Kobusingye, yakulembeddemu kusendasenda bba okusinda omukwano era amangu ddala ssemaka Tugumisiriza yabadde akooye era yaggudde eri neyebaka.
Ku ssaawa 7 ez’ekiro, omukyala Kobusingye yakutte akambe, kwe kusala bba ebitundu by’ekyama era mu kiseera kino aliira ku nsiko.
Wakati mu maziga ssaako n’obulumi, ssemaka yasobodde okweyambisa emmotoka yawaka, okudduka mu ddwaaliro lye Nyakibale nga yenna atonnya musaayi.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate, Kobusingye abadde ne bbaawe emyaka egisukka 27 nga balina abaana 4.
Mu ddwaaliro, abasawo bakaanyisa omutaka yenna okumugyako olw’okutaasa obulamu.
Maate awanjagidde abatuuze bonna abalina amawulire ku mukyala Kobusingye okuyamba ku Poliisi, kuba kati aliira ku nsiko.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/741290210160801