Ekintu ekigambibwa okuba bbomu kibwatukidde mu katawuni k’e Kapeeka mu disitulikiti y’e Nakaseke, era omuntu afiiriddewo, ate babiri (2) batwaliddwa mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi, bali maziga, bataawa ssaako n’okutonnya omusaayi.
Ekintu kibwatuuse ku ssaawa nga 3 ez’okumakya ga leero, ekirese abatuuze nga bali maziga ssaako n’ekiyongobero.
Okusinzira ku ssentebe wa LC 3 mu ggoombolola y’e Kapeeka Moses Ssenfuma, kigambibwa ekibwatuse kirondeddwa mu kifo ekitamanyiddwa era kigambibwa omusajja abadde akikoona, okufuna sikulaapu ne kibwatuka.
Ssenfuma agamba nti, abafunye ebisango embiriizi zimenyese ssaako n’amaggulu.
Amangu ddala Poliisi eyitiddwa, era ekifo kizingiddwako abasirikale b’oku kitundu wakati mu kulinda abasirikale abakugu mu kwekeneenya bbomu, okwekeneenya ekibwatuse.
Olunnaku olw’eggulo ku lwokusatu, waliwo bbomu eyabwatukidde mu maka ga Sam Jjooga ku kyalo Nvunanwa mu ggoombolola y’e Semuto wabula tewali muntu yalumiziddwa.
Ate mu sabiiti 2 eziyise, abaana basatu (3) baafa ku kyalo Segalye mu ggoombolola y’e Semuto, nga kigambibwa baalonda bbomu era baali bagizanyisa.
Abamu ku bakulembeze bagamba nti bbomu eziri mu kitundu ekyo, zezimu kwezo ezaali zikozesebwa wakati wa 1981- okutuusa 1986 mu lutalo olwa National Resistance Army.
Omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo ekya Savannah, Isah Ssemwogerere agamba nti omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro e Nakaseke okwekebejjebwa ssaako n’abantu abafunye ebisago, okufuna obujanjabi.