Amyuka Sipiika wa Palamenti Anita Among alabudde abakiise ba Palamenti okukomya okweyambisa emikutu migatta bantu omuli Face Book, okuggyako amawulire n’okutwala ensonga mu Palamenti nga tebannaba kunoonyereza.
Among agamba nti bingi ku bitambuzibwa ku mikutu migatta bantu byabulimba era bo ng’abakulembeze balina okubyewala n’okubisengejja.
Bw’abadde mu Palamenti akawungeezi ka leero, agambye nti mu kiro, waliwo eyamusindikidde ebintu ku mikutu migatta bantu, ebiraga nti ekisaawe ky’Ennyonyi Entebbe, kitwaliddwa eggwanga lya China nga n’erinnya likyusiddwa okudda ku ‘’China Entebbe International Airport’.
Sipiika agamba nti enkya ya leero, akedde kusindika muntu ku kisaawe Entebbe okwekeneenya ebyakyusiddwa kyokka byonna ebyamusindikiddwa, byabadde bya bulimba.
Sipiika Among okutabuka n’okulabula, kivudde ku mubaka wa Monicipaali y’e Kasilo Elijah Okupa, okutegeeza Palamenti akawungeezi ka leero, nti bakooye era bali mu kutya, kwebyo ebitambuzibwa ku mikutu migatta bantu nga biraga nti Uganda yawaddeyo ekisaawe kye Ntebbe eri gavumenti y’eggwanga erya China, basolooze okutuusa nga bagyeemu ensimbi zaabwe ezibanjibwa.
Mu Palamenti Elijah Okupa asabye Gavumenti okuvaayo okutangaza eggwanga ku nsonga y’ekisaawe kye Ntebbe, okusinga okusirika nga China yakitwala dda olw’ebbanja, Uganda mwetubidde.
Ate abasuubuzi mu Kampala abeegatira mu kibiina kyabwe ekya KACITA bavuddeyo ku lwa Munnayuganda omusuubuzi, eyalabikidde mu katambi nga yenyigidde mu kutunda enseenene ku nnyonyi ya Uganda Airlines.
Mubiru Paul myaka 27 nga mutuuze we Nsambya mu Kampala ne munne, eyamukwata akatambi Hajib Kiggundu, baguddwako emisango esatu (3), omuli okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okutambuza Covid-19, okugyemera ebiragiro by’oku nnyonyi ne benyigira mu kutunda eby’okulya nga tebakkiriziddwa n’okwolesa empisa ensiwuufu.
Wabula Mubiru bw’abadde ayogerako n’omusasi waffe Nakaayi Rashidah mu Kampala, asabye okusonyiyibwa.
Agamba nti yakikoze olw’obutamanya nga waliwo mukwano gwe eyamusabye okumuguza ku nseenene nga tamanyi, kimenya amateeka.
Asabye aba Uganda Airlines okumusonyiwa ne bannayuganda bonna kwekyo ekyakoleddwa.
Ku nsonga ezo, ssentebe w’ekibiina kya KACITA Musoke Nagenda, asabye Gavumenti okuvaayo okusomesa abantu ennenyisa y’oku nnyonyi, okutaasa abantu okuddamu okumenya amateeka.
Nagenda era asabye Gavumenti okusonyiwa Mubiru ne Kiggundu ku by’okutunda enseenene ku nnyonyi okusinga okuteekawo embeera ey’okubalemesa emirimu gyabwe ku myaka emito.