Omusomesa wa Pulayimale mu disitulikiti y’e Luweero, akwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana myaka 9 gyokka.
Omusomesa Richard Obonyo myaka 28 nga musomesa ku Child Care Primary School mu Tawuni Kanso y’e Kikyusa, abadde asomesa abaana mu ngeri ya ‘coaching’ yakwattiddwa.
Obonyo ali ku misango gy’okusobya ku muyizi w’ekibiina eky’okuna ku Kikyusa Grammar Primary School.
Okusinzira ku taata w’omwana, oluvanyuma lwa ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuggala amasomero, Obonyo yatambula ku kyalo ng’abasaba abazadde okumwesiga n’abaana okubasomesa.
Taata agamba nti Obonyo aludde ng’asomesa abaana makaage okutuusa olunnaku olw’eggulo ku Mmande lwe yasobeza ku mwana we, mu kabuyonjo.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah, Isah Ssemwogerere agamban nti Obonyo akwattiddwa ku by’okusobya ku mwana omuto era atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Luweero.
Mungeri y’emu agamba nti n’omwana, atwaliddwa mu ddwaaliro okwekebejjebwa okuzuula ekituufu.
Wabula Audrey Kanyesigye, ssenkulu w’ekitongole ky’obwannakyewa ekikola ku nsonga z’abaana ekya Just Like My Child Foundation alabudde abazadde okukomya okwesiga ennyo abasomesa, ekiwadde omukisa abasomesa okubasobyako.
Ate Poliisi e Busia ekutte omukyala ku misango gy’okusangibwa n’ekintu ekigambibwa okuba bbomu.
Angela Banamwana ali mu gy’obukulu 35 nga mutuuze we Kisoro yakwattiddwa.
Poliisi egamba nti omukyala ono asangiddwa ng’aliko ppanya mwayagala okuyita ku kyalo Sofia mu ggoombolola y’e Busia.
Kigambibwa abadde yakava mu kibuga Nairobi mu ggwanga erya Kenya okudda mu kibuga Kampala.
Mu kugibwako sitetimenti ku Poliisi, omukyala agamba nti waliwo mukwano gwe, eyamuwedde ekintu ekimukwasiza nti bbomu, nga kyakutundibwa mu Kkampuni gyageenye okwatuukiriza mu kibuga Nairobi.
Omukyala ono, agamba nti mu Kibuga Nairobi, aba Kampuni bagaanye okukigula era abadde agezaako, okukizza mu Kampala okukwasa mukwano gwe, eyakimuwa.
Wabula addumira mu disitulikiti y’e Busia Didas Byaruhanga agamba nti omukyala asigadde mikono gya Poliisi nga n’ekintu ekimukwasizza, kisindikiddwa mu kitongole kya Poliisi ekirwanyisa obutujju, okwekebejjebwa.
Wabula abamu ku batuuze, basabye Gavumenti okwongera okunyweza ebyokwerinda, okutangira embeera yonna, eyinza okutaataganya emirimu gy’abantu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=zFZxI1Ea28g