Kyaddaki Paapa Francis alonze omusumba Paul Ssemogerere okudda mu bigere by’omugenzi Dr. Cyprian Kizito Lwanga nga Ssaabasumba w’essazza ekkulu erya Kampala nga wakayita emyezi munaana (8) bukya Dr. Lwanga afa.
Amawulire, galangiriddwa omubaka wa paapa mu Uganda, Ssaabasumba Luigi Bianco nga Paapa bw’alonze omusumba we Kasana-Luwero Ssemogerere nga Ssaabasumba wa Kampala omuggya.
Omusumba Ssemogerere yabadde akuuma entebe ya Ssaabasumba wa Kampala nga yalondebwa, nga wakayita ennaku 4 zokka nga Dr. Cyprian Kizito Lwanga amaze okufa.

Ebimu ku bikwata ku Ssemogerere!
Ssemogerere yalondeddwa ng’omusumba w’essaza ly’e Kasana – Luweero nga 4, Ogwomukaaga, 2008 okudda mu bigere by’omugenzi Dr.Cyprian Kizito Lwanga.
Nga 30, Ogwomwenda, 2006, Lwanga yatuuzibwa nga Ssaabasumba w’essazza ekkulu erya Kampala.
Kyokka oluvanyuma lwa Ssaabasumba Lwanga okufa nga 3, Ogwokuna, 2021, Paapa yalonda Ssemogerere okugira ng’addukanya emirimu gy’obwa Ssaabasumba w’essza ekkulu ery’e Kampala.
Bishop Ssemogerere yazaalibwa nga 30, Ogwomukaaga, 1956 e Kisubi mu disitulikiti y’e Wakiso ng’aweza egy’obukulu 65.

Bishop Ssemogerere yasomera ku Kigero Primary School oluvanyuma yagenda ku Kisubi Boys Primary School, gye yamalira eky’omusanvu (P7), ate mu ‘Secondary” ku St. Maria Goretti Senior Secondary School e Katende okutuusa S4.
Mu 1976, Ssemogerere ne banne musanvu (7) nga bakyali baana abato, be basooka okusomera ku St Mbaaga Seminary e Ggaba.
Mu 1978, omugenzi Cardinal Emmanuel Kiwanuka Nsubuga, yasindika Ssemogerere okwongera okusoma mu by’eddini ku Saint Francis de Sales Seminary mu ggwanga lya America era mu 1982 yafuna ‘Master’ mu by’eddini.
Ate nga 3, Ogwomukaaga, 1983, Cardinal Emmanuel Nsubuga, eyali ssaabasumba wa Kampala mu kiseera ekyo, yatuuza Ssemogerere nga Omusosodoti, mu Kampala okutuusa nga 4, Ogwomukaaga, 2008.
Nga 4, Ogwomukaaga, 2008, yafuna obwa ‘Bishop’, era nga 23, Ogwomunaana, 2008, yatuuzibwa mu ntebe ng’omusumba w’essaza ly’e Kasana – Luweero ku mikolo egy’akulemberwamu, kati omugenzi Dr. Lwanga.
Wabula era Paapa azzeemu okumulonda okudda mu ntebe y’omugenzi Dr. Lwanga nga Ssaabasumba w’essazza ekkulu erya Kampala.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=wsqnbhwZ84o