Kyaddaki akakiiko k’ebyokulonda kalangiridde Andrew Muwonge owa NRM nga ssentebe wa disitulikiti y’e Kalyunga (LC5).
Okusinzira ku birangiriddwa akulira eby’okulonda mu disitulikiti y’e Kayunga Jennifer Kyobutungi, Muwonge afunye obululu 31,830 ate Harriet Nakweede owa National Unity Platform (NUP) amalidde mu kyakubiri ng’afunye obululu 31,380 era awanguddwa n’enjawulo ya bululu 450.
Akalulu kabaddemu abantu mukaaga (6) era Majid Nyanzi amalidde mu kyakusatu (3) n’obululu 1,297, Musisi Boniface Bandikubi 470, Jamilu Kamoga, 279 ate Anthony Wadimba owa Democratic Party (DP) akutte kya mukaaga n’obululu 158.

Oluvanyuma lwa Muwonge okulangirirwa, agambye nti kati ye ssaawa okutambuza emirimu, Kayunga okudda ku maapu, okwenyigira mu kulwanyisa ensonga ezinyigiriza abalonzi.
Mungeri y’emu awanjagidde abantu bonna okwegata mu kiseera kino oluvanyuma lw’okulonda, okusobola okutwala Kayunga mu maaso.
Nakweede ebigaanye!
Munna NUP Nakweede agaanye ebivudde mu kulonda era ye ne bannakibiina, bagamba nti bagenda kweyongerayo mu kkooti.

Nakweede agamba nti ebivudde mu kulonda bikyusiddwa ate nga okulonda kwonna, kubaddemu vvulugu.
Agamba nti okusinzira ku mpapula zaabwe, ezaavudde mu bitundu bye Kayunga ebyenjawulo ku bifo awalondebwa (Declaration of Results Forms), abadde alina okuwangula akalulu n’enjawulo ya bululu 15000.
Mungeri y’emu agamba nti waliwo ebifo ebirangiriddwa, ng’obululu businga abalonzi, ekiraga nti okulonda tekubadde kw’amazina na bwenkanya.
Nakweede ne banne, balangiridde olutalo ku Gavumenti ya Uganda, okutangira embeera y’okukyusa ebivudde mu kulonda okweyongera mu ggwanga.
Mu bigambo bye, Nakweede agamba nti Agenti we John Mary Ssebuwufu, yagobeddwa ku offiisi z’akakiiko k’ebyokulonda e Kayunga olw’okuwakanya ebyabadde birangirirwa.
Bobi Wine ayogedde!
Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) nga Pulezidenti w’ekibiina ki NUP naye avuddeyo oluvanyuma lwa Muwonge owa NRM okuwangula omuntu we mu disitulikiti y’e Kayunga.

Bobi Wine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book era agambye nti, Pulezidenti Museveni asobodde okubba obuwanguzi bw’abantu emisana ttuku, okulangirira munnakibiina kye nti awangudde okulonda.
Bush Boy King atabukidde Bobi Wine!
Omu ku bagoberezi ba Bobi Wine Bush Boy King alabudde Bobi Wine okukomya okulowooza nti ebigambo bye ku Face Book ebisobola okukyusa embeera yonna.
Boy King awadde Bobi Wine amagezi okutuula wansi okulowooza ekiddako ennyo, bwe kiba talina kipya, alina okwegata ku NRM mu mirembe. Agamba nti Bobi Wine alina okukomya okulowooza nti basobola okukyusa nakyemalira nga bw’alowooza nga bayita mu bigambo bya Face Book.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=EDWSeGfP-0w