Poliisi mu ggwanga erya Kenya mu kibuga Nairobi etandiise okunoonyereza ku ngeri omusajja myaka 42 bw’afiiridde mu kaboozi ng’ali ne muganzi we.

Erastus Madzomba yafa sabiiti ewedde ku Lwokusatu, nga 29, December, 2021 nga yali mu kaboozi ne muganzi we Elgar Namusia mu loogi za Broadway e Kawangware.

Kigambibwa Madzomba abadde yakamala mu laavu ne Namusia mwezi gumu era abadde yakamutwala mu loogi emirundi 2 gyokka.

Oluvanyuma lw’okufa, Poliisi yayitiddwa era omulambo gwasangiddwa nga guli bwereere ku buliri.

Abamu ku bakozi ku Loogi bagamba nti omugenzi Madzomba kiteeberezebwa nti yabadde alina endwadde z’omutima era kirowoozebwa nti omutima gwesibye wakati mu kusinda omukwano.

Embeera mu ggwanga erya Sudan eyongedde okubiggya, Ssaabaminisita w’eggwanga eryo Abdalla Hamdok bw’alekulidde nga wakayita ennaku ntono ddala nga bannansi bali mu kwekalakaasa mu kibuga Khartoum.

Bannansi mu kwekalakaasa baali bawakanya ekya Ssaabaminisita ogabanya obuyinza n’amaggye agaali gawamba obuyinza mu October, 2021.

Nga bakutte ebipande okuwandikiddwa obuyinza budde eri abantu, amaggye gazzeemu okweyambisa amaanyi agasukkiridde mu kutebenkeza embeera era abantu babiri (2), battiddwa.

Wabula agava mu ggwanga eryo, galaga nti Ssaabaminisita Hamdok okulekulira, amaggye gasigaza obuyinza bwonna.

Mu Sudan, embeera eyongedde okutabanguka ku nsonga y’obukulembeze, oluvanyuma lw’okuggyako eyali omukulembeze w’eggwanga eryo Omar al-Bashir mu 2019.

Omar al-Bashir 78, yakulembera Sudan, nga Pulezidenti 7 okuva 1989 – 2019 nga yamala mu ntebe emyaka 30 wabula mu kiseera kino ali mu kkomera ku misango egy’enjawulo omuli n’okubulanyanka ensimbi z’eggwanga.

Mu kiseera kino abamu ku bannansi bagamba nti Ssaabaminisita Hamdok okulekulira, kyongedde okuteeka eggwanga mu kaseera akazibu.