Minisita omubeezi alondoola eby’enfuna by’eggwanga Peter Ogwang, alabudde nti bajjeti y’eggwanga okuyita, muteekeddwa okuteekebwamu ssente, ezisasaanyizibwa mu kutambuza omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ebweru w’eggwanga.
Minisita Ogwang, bw’abadde mu kakiiko ka Palamenti akalondoola ensonga z’obwa Pulezidenti, ng’akiikiridde, Minisita w’ensonga z’obwa Pulezidenti Milly Babirye Babalanda, agambye nti wadde Minisitule y’ebyensimbi, egezaako, okunyigiriza okukendeza ku Bajjeti y’eggwanga, ssente ezitambuza omukulembeze w’eggwanga mu nsi z’ebweru, ziteekeddwa okuteekebwa mu bajjeti y’eggwanga.
Minisita Ogwang agamba nti omukulembeze w’eggwanga, abaako n’ensonga enkulu ezimutwala ku lw’obulungi bw’eggwanga, era buli lwatambula, asasaanya ssente ez’enjawulo okusinzira ku lugendo, abantu batambudde nabo, ennaku zagenda okumalayo ssaako n’ensonga endala.
Wadde Minisita Ogwang, alemeddeko ku ssente ezitambuza omukulembeze w’eggwanga, abakakiiko nga bakulembeddwamu ssentebe era omubaka we Adjuman Jessica Ababiku, balagidde Minisita okudda mu kakiiko kaabwe n’omuwendo gwa ssente omutuufu ogwetaagisa okutambuza omukulembeze mu nsi z’ebweru.
Okusinzira ku offiisi y’omukulembeze w’eggwanga, betaaga obuwumbi obusukka 400 mu bajeti y’omwaka 2022 – 2023, gye bali mu kutekateeka mu kiseera kino.
Ate abatembeyi mu Kampala, bawanjagidde abakulembeze okubateekerateekera okusinga okubasindikiriza n’abakwasa amateeka mu kitongole ki Kampala Capital City Authority (KCCA) okutwalanga emmaali yaabwe.
Abatembeyi omuli abatundira ku nguudo, ku nzigi z’ebizimbe ne ku mbalaza, bagamba nti embeera embi n’obutaba na kapito, y’emu ku nsonga lwaki bakeera kutembeeya.
Nga bawayamu n’omusasi waffe Nalule Aminah, bagamba nti kiswaza, abakulembeze mu Kampala, okubasindikiriza mu kiseera kino, nga balina okunoonya ensimbi, okuzza abaana ku massomero ate nga bakoseddwa nnyo Covid-19.
Bagamba nti wadde Gavumenti yazimba obutale omuli Wandegeya, Usafi n’obulala, teri baguzi ate mu butale, basaba emisolo mingi ddala.
Okuwanjaga, kidiridde RCC wa Kampala Hudu Hussein, okuddamu okubawa ennaku 5 zokka, nga bonna bavudde ku nguudo z’omu Kampala.
RCC Hudu, agamba nti nsalesale wa 10, Janwali, 2022, yaweddeko, abatembeyi okuva ku nguudo, kyokka abongeddemu ennaku 5 zokka okuvaako, nga tewali kubasindikiriza.
RCC Hudu ng’asinzira ku Media Centre mu Kampala enkya ya leero, agambye nti nga 16, Janwali, 2022, abatembeyi bonna balina okuva ku nguudo kuba kimenya mateeka okutundira mu kifo ekimenya amateeka.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ocll-FcesEY&t=514s