Waliwo bannayuganda abaddukidde mu kkooti enkulu mu Kampala nga bawakanya eky’amassomero, okulinyisa ‘School Fees’, ekyongedde okulemesa abazadde okuzza abaana ku massomero ssaako n’okubanyigiriza mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19.
Bano, abegatira mu kibiina kyabwe ekya Coalition for quality and accessible Public Education, ekirwanirira omutindo gw’ebyenjigiriza, mu kkooti baloopye Ssaabawolereza wa Gavumenti, nga baagala ateeke ku nninga, kabiite w’omukulembeze w’eggwanga lino era Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo mu ggwanga Janet Kataaha Museveni, okuleeta etteeka ku nsonga ya ‘School Fees’.
Mungeri y’emu banokoddeyo n’ebikozesebwa ebirala ebisabwa ku massomero nti bisukkiridde obungi, nga nabyo, byongedde okunyigiriza abazadde.
Mu kkooti nga bakulembeddwamu bannamateeka Andrew Kalamagi ne Michael Aboneka, bagamba nti ebigenda mu maaso mu ggwanga, Gavumenti esukkiridde okusuulirira ebyenjigiriza, ekyongedde okuwa omukisa bannanyini massomero okunyigiriza abazadde n’okulemesa omwana w’omunaku okusoma.

Munnamateeka Aboneka ayogeddeko n’omusasi waffe Nakaayi Rashidah era agamba nti Gavumenti erina obuvunaanyizibwa okusomesa abaana b’eggwanga kyokka eyongedde obutafaayo, ekivuddeko abantu okutandikawo amassomero okufuna ensimbi.
Munnamateeka Aboneka, agamba nti wadde gavumenti yakkiriza abayizi abali embutto okudda ku massomero ssaako n’abo abaali bazadde, obutabaawo tteeka, y’emu ku nsonga lwaki, agamu ku massomero, galemesezza abayizi abali mu mbeera bwetyo, okuddayo okusoma.
Bagamba, Gavumenti erina okuvaayo, okweddiza ebyenjigiriza mu massomero gonna mu ggwanga okulambika entambuza y’emirimu ssaako ne ‘School Fees’.
Ate ku nsonga y’okusaba ebyetaago ku massomero omuli enjeyo, langi okusiiga ku bizimbe, n’ebirala, munnamateeka Aboneka agamba nti bisukkiridde ate nga n’abazadde bagibwako ssente mpitirivu.
Ate minisitule y’ebyenjigiriza eweze amasomero gonna okutuuza abayizi abali mu bibiina eby’akamalirizo omuli P7, S4 ne S6 ebigezo eby’okugezesa biyite ‘mock’ kwossa ebyo ebitandika olusoma n’ebyo ebikolebwa wakati mu lusoma.
Minisitule egamba abayizi balina kukola bigezo byakamalirizo byokka nga obudde obwo abasomesa babukozese okusomesa abayizi byebasubiddwa mu budde bw’omuggalo.
Okusinzira ku mwogezi wa Minisitule y’ebyenjigiriza Dr. Denis Mugimba, abasomesa balina okweyambisa ekiseera kino okusomesa abayizi okusinga okutwala ebiseera mu kutekateeka ebigezo bya ‘Mock’.
Mu Uganda, ebigezo bya Mock bibadde bikoleddwa buli Ttaamu ey’okubiri.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=hdJNxD_zK_I