Kyaddaki kkooti e Nakawa, esindise mu kkooti enkulu, abantu abaakwatibwa ku by’okulumbagana Minisita w’enguudo n’ebyentambula, munnamaggye Gen Katumba Wamala ne batta muwala we Nantongo Brenda Katumba ssaako ne Ddereeva we Haruna Kayongo.
Gen Katumba, yalumbibwa nga 1, Gwomukaaga, 2021 e Kisaasi mu Kampala abatemu abaali ku Pikipiki, era mu kunoonyereza, abakwate bakulungudde ku limanda emyezi egisukka mukaaga (6).
Mu maaso g’omulamuzi Posiano Odwori, abakwate bali munaana (8) nga bali ku Limanda mu kkomera e Luzira ne Kigo era okusindikibwa mu kkooti enkulu, bayongeddwako emisango mukaaga (6) okuva ku misango 24 omuli egy’obutemu ne badda ku misango 30.
Wabula munnamateeka w’abasibe, Geofrey Turyamusiima, agamba nti wadde abantu be bongeddwako emisango 6 okudda ku misango 30, tewali kigeenda kubatiisa.
Turyamusiima alemeddeko nti abakwate, tebalina musango.
Abasibe kuliko; Hussein Serubula, Yusuf Nyanzi, Kamada Walusimbi, Mohammed Kagugube, Sirimani Kisambira Ayub, Abdulziz Ramathan Dunku, Habib Ramathan Marjan ne Muzaifa Wampa.
Ate Poliisi y’e Kajansi ekutte abantu babiri (2) ku by’okubba ‘Number Plate’ ku mmotoka mu bitundu okuli Lweza B , Kitende, Sekiwunga ne Bwebajja mu Tawuni Kanso y’e Kajansi mu disitulikiti y’e Wakiso.
Abakwate kuliko Sebigo Samuel myaka 31, omutuuze we Kawotto Cell, Kitende Ward mu Tawuni Kanso y’e Kajansi mu Wakiso ne Maseruka Misach myaka 27, omutuuze we Lweza B cell/Kawali nga bonna bakwattiddwa mu kikwekweeto kya Poliisi nga kivudde ku batuuze okweyongera okwemulugunya ku by’okubba ‘Number Plate’ zaabwe.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano ASP Luke Owoyesigyire, wadde babiri (2) bakwattiddwa, Sebigo ne Maseruka, waliwo banaabwe abakyaliira ku nsiko okubanoonya kukyagenda mu maaso.
Mu kikwekweeto, Poliisi ezudde ‘Number Plate’ ttaano (5) era abakwate mu kiseera kino bali ku Poliisi y’e Kajansi nga Poliisi egenda kubatwala mu kkooti, oluvanyuma lw’okunoonyereza.
Owoyesigyire agamba nti abakwate bagenda kuyamba nnyo Poliisi okuzuula banaabwe abaliira ku nsiko mu kiseera kino okusobola okutaasa abatuuze abawangalira mu kutya.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=5BwY0rhJ6RY&t=367s