Poliisi y’e Katwe etandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu ekyavudde omuliro, ogulese abaana babiri (2) nga z’embuyaga ezikunta.

Omuliro gubadde mu zzooni y’e Kifamba e Makindye mu Kampala ku ssaawa nga 3 ez’ekiro ekikeeseza olwaleero.

Wadde Poliisi y’abazinya mwoto, yasobodde okuyitibwa okuzikiza omuliro, weyatuukidde ng’abaana babiri (2) Babirye Nabaka myaka 4 ssaako ne Ssembatya Karim myaka 2, bamaze okufa era nga bafuuse bisiriiza.

Mu kiseera ekyo, nnyabwe  Nanono Faridah yabadde abasibidde mu kazigo ke, ng’agenze kukima mazzi ku luzzi.

Wakati mu kulukusa amaziga, maama Nanono agamba nti ebintu byonna byandiweddewo naye ng’asigazza abaana be.

 

Poliisi egamba nti emirambo gyombi gyasindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwongera okwekebejjebwa.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti okunoonyereza ekyavuddeko omuliro kutandikiddewo n’okwekeneenya ekikolwa eky’obulagajjavu ekya maama okusibira abaana mu nnyumba.