Omuyimbi Stanley Omah Didia amanyikiddwa nga Omah Lay munnnasi we Nigeria myaka 24 awonye okusobezebwako ku siteegi, slay queen bw’azze ng’amazeeko okugimuwa.

Omah Lay mu biseera bye eby’eddembe

Ekivvulu kibadde mu ggwanga erya Sweden era Omah Lay yalinye ku siteegi ku ssaawa nga 5 ez’ekiro ng’abadigize bamulindiridde.

Omah Lay n’omuwala wansi ku siteegi

Omah Lay ku myaka 24 y’omu ku bayimbi abato, kati abaliko mu Africa olw’ennyimba ze omuli attention, Understand, Godly, Forever, Lo Lo, Bad Influence, Free My Minds n’endala.

Omah Lay yabadde ali ku siteegi wakati mu kuyimbira abantu, omu ku bawala ‘slay queen’ yalinye ku siteegi era amangu ddala yamuguddeko mu ngeri y’okuyoya omukwano.
Abakola ku byokwerinda webatuukidde nga slay queen amaze okusumulula zzipu ya Omah Lay, kwe kutaasibwa.

Omuwala yagiddwa ku siteegi


Omuwala wakati mu kuswala yagiddwa ku siteegi wabula Omah Lay yabadde yenna atuyanye.

Kigambibwa omuwala yalinye ku siteegi nga tali mu kawale, abamu ku badigize kwe kulekanira waggulu nti, “wewonyiwe okusobya ku mwana waffe”.

Vidiyo!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ZKJNrXKJW5c