Poliisi y’e Butaleja ekutte maama n’omusajja ku misango gy’okufumbiza muwala we myaka 14 ku musajja ali mu gy’obukulu 40.

Maama Nadera Mariyati n’omusajja Ali Gulooba nga batuuze ku kyalo Mwanswa mu ggoombolola y’e Busaba, bebakwatiddwa.

Okusinzira kw’alipoota ya Poliisi, Gulooba yawasa omwana sabiiti ewedde nga bakaanyiza okuwaayo ssente miriyoni emu (1,000,000) era yawaako ssente 500,000 ne bamukwasa omwana omuto okuwasa.

Wabula Poliisi yafunye okutegeezebwa era omwana agiddwaayo wakati mu kulukusa amaziga buli lwajjukira embeera gy’abaddemu.

Ku lwa Poliisi, Moses Mugwe, omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, agambye nti omusajja Gulooba akwattiddwa era aguddwako emisango gy’okusobya ku mwana omuto.

Mu kiseera kino taata w’omwana aliira ku nsiko era Poliisi eyungudde basajja abaayo, okumunoonya akwattibwe.

Ate Betty Nesihwe, akulira ensonga z’amaka n’abaana mu disitulikiti y’e Butaleja agambye nti ebikolwa by’abaana okusobezebwako byeyongedde wabula emisango egisinga obungi, gigwera ku byalo mu Bassentebe nga bayise mu nteseganya.

Mungeri y’emu agamba nti buli wiiki, bafuna emisango egisukka 5 egy’abaana okusobezebwako n’okubafumbiza ku myaka emito era abaana bangi, bafunye embutto.

Ate ebitongole by’okwerinda ebiri ku ddiimu ly’okunoonya abatujju, bazudde nti bbomu enjigirire, yeyabadde etegeddwa ebbali w’ekkubo ku kyalo Mitala Maria mu Tawuni Kanso y’e Buwama mu disitulikiti y’e Mpigi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.

Okunoonyereza, kulaga nti bbomu okubwatuka ku ssaawa nga 2 ez’ekiro ku Lwomukaaga, kwe kutuusa obulabe ku mmotoka z’omulamuzi omukulu muyite Principal Judge Dr. Flavian Zeija newankubadde mu kutya, abatuuze ssaako n’abakola ku byokwerinda by’omulamuzi, baategeeza nti yali alumbiddwa abazibu b’emmundu.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, mu kwekebejja ekifo awaabadde obulumbaganyi, abasirikale bazudde ebintu eby’enjawulo, ebyeyambisibwa mu kugingirira bbomu omuli emisumaali.

Enanga ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru era agambye nti tewali kiraga nti bbomu wadde yabwatukidde ku mmotoka z’omulamuzi omukulu Dr. Zeija, yabadde alumbiddwa.

Agumizza eggwanga nti bakyanoonyereza okuzuula abenyigidde mu kikolwa ekyo, kwe kulabula abasabaze ku nguudo omuli n’abo abalina ebidduka okwegendereza.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=iqYcJeYUKFY