Pulezidenti Museveni alaze sitamina mu kalulu!
Munnakibiina ki National Resistance Movement (NRM) Andrew Ojok Oulanyah alangiriddwa ng’omuwanguzi mu kuddamu okulonda omubaka we Omoro mu Palamenti.
Andrew Ojok alondeddwa okudda mu bigere bya Jacob Oulanyah, eyali sipiika wa Palamenti, eyafiira mu Seattle mu ggwanga lya America nga 20, March, 2022, ekirwadde kya Kansa.
Ku kitebe kye ggoombolola y’e Lalogi, akulira eby’okulonda mu disitulikiti y’e Omoro Moses Kagona, yalangiridde Ojok ng’omuwanguzi n’obululu 14,224.

Simon Toolit Akecha, abadde akulembeddemu ekibiina ki National Unity Platform-NUP akutte kyakubiri ng’afunye obululu 633.
Terence Odonga abadde talina kibiina, amalidde mu kyakusatu n’obululu 532, Justine Odong Obiya owa Forum for Democratic Change (FDC) kyakuna n’obululu 529.
Abalala kuliko Jimmy Odong Onen, abadde talina kibiina akutte kyakutaano n’obululu 88 ate Oscar Kizza owa Alliance for National Transformation (ANT) akutte kyamukaaga 63.
Ku balonzi 38,638, abalonzi 17,454 bebavuddeyo okulonda mu bifo 84, ate obululu 10 bwe bwafudde.
Ojok wakati mu ssanyu asuubiza okukola kyonna ekisoboka okwenyigira mu kulakulanya abantu be n’okutuukiriza ebigendererwa bya kitaawe kati omugenzi Jacob Oulanyah.
Ate mu kulonda Kansala omukyala owe Lalogi/Lakwaya, Florence Lalam owa NRM alangiriddwa ng’omuwanguzi.
Mercy Ayoo owa FDC akutte kyakubiri n’obululu 708, Franka Lawino nga talina kyakubiri afunye 683, Christine Anek Topista owa Uganda People’s Congress (UPC) 309 ate Margaret Labol owa NUP 130.
Ku bifo 25 ebirondebwamu, abalonzi 4,200 bebalonze ate obululu 101 bufudde.
Ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama agamba nti okulonda, kutambudde bulungi ddala era kubadde kwa mirembe.
Wabula Mathias Mpuuga, akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, agamba nti okulonda kubadde emivuyo, okutisatiisa, okusiba abantu baabwe okulonda tekubadde kw’amazima na bwenkanya.
Ate Oscar Kizza agamba nti okulonda kubaddemu okubba obululu n’okutambuza ssente mu balonzi, ekintu ekimenya amateeka.
Abamu bagamba nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okusindika amaggye mu Omoro, bangi ku balonzi baatidde okwetaba mu kulonda.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=6rZWeQxPNRs