Kyaddaki Poliisi efulumizza alipoota ku byavudde mu kunoonyereza, ku katambi k’abayizi ba Lubiri High School, akatambula ku mikutu migatta bantu omwezi oguwedde.
Akatambi, kalaga abayizi b’essomero lya Lubiri High School abawala nga bazina beekulukuunya ku baana abalenzi, we baali bava mu kusoma e Jinja nga n’abayizi abalenzi, yingini zibugumye bateze emisumaali.
Akatambi mu kutambula ng’abayizi ba Lubiri High School, bali mu bbaasi ya Midland High School, bangi ku bannayuganda basigala basobeddwa nga bewunya abayizi abato, okudda mu nsonga z’okusinda omukwano nga bali mu kirindi nga bali mu bbaasi era kigambibwa y’emu ku nsonga lwaki akatambi, katambula nnyo, nga bewuunya abayizi okukyusa ebiwato mu ngeri y’okulaga obukugu.
Wabula mu kunoonyereza, Poliisi egamba nti essomero, lyakola ensobi, okusindika abasomesa babiri (2) bokka okulondoola abaana abasukka 70.
Abasomesa okuli Joseph Nsubuga n’omukyala Lydia Nabakka, basimbiddwa mu kkooti ku misango gy’okulagajjala ng’abayizi bali mu kwesaliza.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, okunoonyereza era kulaga nti abayizi baali mu kwekulukuunya n’okutambuza emikono mu ngeri y’obuseegu.
Alipoota ya Poliisi, eragidde abakulu b’essomero lya Lubiri High School, abayizi bonna abenyigira mu bikolwa nga bazina mu ngeri y’obuseegu, okubakangavula mu ngeri y’okubasindika okudda awaka, okumala akaseera.
Mungeri y’emu agambye nti bbaasi okutwala abayizi abangi okusinga kw’abo, abalina okutambuliramu, essomero lyalaga obulagajjavu.
Enanga era agamba nti n’okusindika abasomesa babiri (2) bokka, ku bayizi abasukka mu 70, nakyo kiraga butafaayo.
Bbaasi yalimu abayizi 73 ate nga yali ateekeddwa kutwala abayizi 67 bokka.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=XEpkLPX6tnc