Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni akoze enkyukakyuka mu bukulembeze bwa kkooti y’amaggye.

Pulezidenti Museveni alonze Brigadier General Robert Freeman Mugabe nga ssentebe wa kkooti y’amaggye e Makindye okudda mu bigere bya Lt. General Andrew Gutti.

Lt. General Gutti ekisanja kye kyagwako nga 9, June, 2022 era agenda kuwumula amaggye ku nkomerero y’omwaka guno ogwa 2022.

Mu April, 2021, Mugabe yakuzibwa okuva ku colonel okudda ku Brigadier era mu kiseera kino abadde akola nga akulira ekitebe ky’amaggye e Bombo okuva 2020.

Lt. General Andrew Gutti ne Brigadier General Mugabe

Brigadier General Mugabe yaliko mu kitongole ky’amaggye ag’omu bbanga kwe kugibwayo okutwalibwa e Bombo.

Okusinzira ku kiwandiiko kya Pulezidenti Museveni, alonze bannamaggye abalala 24 nga Bamemba ku kkooti y’amaggye n’okuzza obuggya endagaano za bannamaggye 4 abaludde nga bakola ku mulembe gwa Gutti.

Bamemba abalala kuliko Col. Joseph Ecelare Okalebo, Lt. Col. Sam Ntungura Ntungura, Major Angella Catherine Laker, Captain Lucy Nicole Etoroi, Captain Abdu Basajjabala ne arrant Officer One, Oyar Boris Mark.

Abalala abalondeddwa mwe muli Brigadier General Ronald Solomon Bigirwa, Col Benard Tumwesigyire, Col. David Emmanuel Muhanguzi, Col. David Ociti Kidega, Lt. Col. Patrick Matovu, Lt. Col. Sebastian Bossa, Lt. Col. David Baguma, Major Stephen Etumidde, Major Cyprian Sande Magezi, Major Jubilee Omax Denis, Captain Grace Mbabazi, Captain Christine Sayuni ne Warrant Officer 1 Robert Nyarare.

Ate abaludde nga bakola ne Gen Gutti abakomezeddwawo kuliko omuwandiisi wa kkooti y’amaggye Col. John Bizimana, Lt. Col. Raphael Mugisha ne Captain Ambroz Guma abaludde nga bawaabi ba kkooti ne Kamanda Silas Mutungi, munnamateeka w’abasibe.

Newankubadde balondeddwa, balindiridde kulayira, okutandiika okutambuza emirimu gyabwe wali mu kkooti e Makindye.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ZSGdu9zCK7s&t=97s