Kyaddaki ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, alonze Pulezidenti w’ekibiina ki Democratic Party (DP) Nobert Mao nga Minisita.
Okusinzira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa akawungeezi ka leero nga kiteekeddwako omukono gwa Pulezidenti Museveni, Nobert Mao alondeddwa nga minisita w’obwenkanya n’ensonga za Ssemateeka.
Museveni mu ngeri y’emu alonze Minisita omubeezi ku nsonga z’ebyemizannyo Denis Hamson Obua nga Nampala wa Gavumenti, okudda mu bigere bya Thomas Tayebwa, eyalondebwa ku ky’okumyuka sipiika wa Palamenti.
Mu nkyukakyuka ezikoleddwa, Museveni alonze omubaka omukyala owe Agago Akello Beatrice Akori nga minisita omubeezi alondoola emirimu gya gavumenti ate Peter Ogwanga alondeddwa okudda mu bigere bya Hamson Obua nga minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza n’emizannyo.
Lwaki leero!
Enkyukakyuka zigeenze okolebwa, nga olunnaku olw’eggulo Nobert Mao ne Museveni, baatadde omukono ku ndagaano eyatuumiddwa “Cooperation Agreement” nga yagendereddwamu ekibiina ki NRM ne DP, okukolagana mu kutambuza eggwanga.
Ekiwandiiko kya Pulezidenti Museveni
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=X88Yvif3AhU