Kyaddaki Ssenkaggale w’ekibiina ki Democratic Party (DP) Nobert Mao akooye embeera embi, ayingidde mu butongole Gavumenti ya National Resistance Movement (NRM) okuyambako mu kutambuza emirimu.

Akawungeezi ka leero, Ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni akoze enkyukakyuka mu Kabinenti ye era Nobert Mao, y’omu ku bantu abagudde mu bintu.

Mu nkyukakyuka ezikoleddwa, Nobert Mao alondeddwa nga minisita w’obwenkanya n’ensonga za Ssemateeka.

Museveni mu ngeri y’emu alonze Minisita omubeezi ku nsonga z’ebyemizannyo Denis Hamson Obua nga Nampala wa Gavumenti, okudda mu bigere bya Thomas Tayebwa, eyalondebwa ku ky’okumyuka sipiika wa Palamenti.

Mu nkyukakyuka endala, Museveni alonze omubaka omukyala owe Agago Akello Beatrice Akori nga minisita omubeezi alondoola emirimu gya gavumenti ate Peter Ogwanga alondeddwa okudda mu bigere bya Hamson Obua nga minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza n’emizannyo.

Ekiwandiiko kya Pulezidenti Museveni

Ebyavudde mu ndagaano!

Olunnaku olw’eggulo Nobert Mao ne Museveni, baatadde omukono ku ndagaano eyatuumiddwa “Cooperation Agreement” nga yagendereddwamu ekibiina ki NRM ne DP, okukolagana mu kutambuza eggwanga.

Ebyabadde mu Ndagaano

Kigambibwa, mu ndagaano yasuubiziddwa okuweebwa ekya Minisita nga y’emu ku nsonga lwaki Muzeeyi Museveni akedde mu nkyukakyuka mu kabineti ye.

Laba engeri Bobi Wine gy’atutte Nobert Mao mu NRM!

Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okuyingira ebyobufuzi mu 2017, eyinza okuba emu ku nsonga lwaki Nobert Mao addukidde mu NRM okutambuza emirimu.

Bobi Wine mu kusooka, yali talina kibiina wabula yali alina ekisinde ki People Power nga kirina obuwagizi bungi nnyo n’okusingira ddala mu bitundu bya Buganda.

Bobi Wine yasalawo okukolagana obulungi n’ekibiina ki DP wabula bwe yali alondebwa ng’omubaka we Kyadondo East, yalondebwa nga talina kibiina kyonna.

Nga tusemberedde okuyingira akalulu ka 2021, Bobi Wine yasalawo okwesonyiwa DP era amangu ddala yavaayo n’ekibiina ki NUP.

Abamu ku bannakibiina ki DP abaali mu Palamenti beegatta  ku kibiina ki NUP okuli  Busiro East MP Medard Lubega Sseggona, Bukoto East MP Florence Namayanja, Bukomansimbi Woman MP Veronica Nanyondo, Kyotera Woman MP Robinah Ssentongo, Butambala County MP Muwanga Kivumbi, Kalungu West MP Joseph Ssewungu Gonzaga, Masaka Municipality MP Mathias Mpuuga, Mukono municipality MP Betty Nambooze, Makindye Ssaabagabo MP Ssempala Emmanuel Kigozi, Makindye West MP Allan Ssewayana ne  Moses Kasibante.

Bobi Wine ne MPs abamu abaava mu NRM ne DP

Kigambibwa, ababaka ba DP okugenda mu NUP, y’emu ku nsonga lwaki Mao, yatandiika olutalo n’ekibiina ki NUP ssaako ne Bobi Wine ng’omuntu.

Okuva olwo, wabaddewo okusika omuguwa nga DP erina obutakaanya ne NUP.

Ababaka okuva mu DP okugenda mu NUP, ne ssente DP ze yali efuna okuva mu babaka eza buli mwezi n’okuva mu kibiina ekitaba ebibiina by’obufuzi ebirina ababaka mu palamenti ekya IPOD nazo kati abadde afuna ntono ddala.

Bobi Wine okutwala ababaka ba DP abaali bayambako okuleeta ssente okutambuza ekibiina n’abakulembeze mu kibiina okufuna omusaala oba akasiimo, kigambibwa y’emu ku nsonga lwaki Mao, yasalawo okusembeze ekibiina ki NRM era mu kiseera kino kati Minisita.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=geJlYJoeI0Y