Twebaza nnyo Minisita Mariam Mayanja ne bannaffe bonna abeenyigidde mu kutegeka olunaku lwa Bulungibwansi olw’omwaka guno. Mwebale nnyo mwebalire ddala.


Ebbanga lye tumaze nga tukuza olunaku lwa Bulungibwansi wano mu Buganda, waliwo ebintu ebituzaamu amaanyi; okugeza, okulaba nga buli mwaka obujjumbize bw’abantu baffe ku lunaku luno bwe yongera bweyongezi. Okwo kwetugatta obungi bw’abavubuka baffe abongera amaanyi mu kukuza olunaku luno. Kino kituzaamu nnyo amaanyi era ne kituwa essuubi, naddala bwe tujjukira nti ebiseera eby’Obwakabaka bwaffe eby’omumaaso, biri mu mikono gyabwe.


Kye tuva tweyongera okubakubiriza obutassa mukono ku nsonga ey’okukuuma Obutondebwebsi, n’endala zonna ezitunyigiriza ng’Obwakabaka ne Uganda okutwalira awamu. Nga kyengamba, nti mwongera okwogeza eddobboozi erimu, ate nga lya mwanguka, nga mu lwanirira ensonga zaffe.
Ffe, tukkiriza nti enkola yaffe eya Bulungibwansi emaze emyaka mingi nga tugikozesa okukuuma Obutondebwensi n’okutumbula embeera ennungi ey’abantu baffe, era ffe, tukkiriza nti esobolera ddala bulungi okukkopebwa gavumenti ey’amakkati n’esaasaana mu ggwanga lyonna olw’obusobozi bwayo okukunga abantu, ate n’okukola olw’ensi yaabwe.


Twagala okwebaza omulimu ogukolebwa abalondoola Obutendebwensi aba NEMA, bakoze nnyo, era tusiimya nnyo.
Twagala ensi ey’emirembe; ekuumiddwa obulungi, era etuweesa essannyu.
Tubakulisa okukuza olunaku luno era tubaagaliza essanyu n’emirembe.
Katonda abakuume.