Kyaddaki omusajja eyakwatibwa ku misango gy’okubuzaawo Nakabembe Jackie myaka 24 abadde omuyizi ku yunivasite y’e Makerere, kyaddaki akkiriza emisango gy’okutta Nakabembe.

Poliisi y’e Kasokoso, yafuna alipoota ya Nakabembe okubula nga 10, omwezi oguwedde ogwekkumi, kyokka 20 era omwezi guwedde, Poliisi yafuna alipoota nti waliwo omukyala eyazuulibwa ng’attiddwa nga 11 era omwezi oguwedde, omulambo ne gutwalibwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.

Okunoonyereza kulaga nti wadde Nakabembe yabadde aziikiddwa mu limbo y’e Bukasa, yaziikuddwa okumugyako Ndaga Butonde (NDA) okuzuula famire ye entuufu kuba yazuulibwa ng’atandiise okuvunda.

Poliisi mu kunoonyereza, Nakabembe ng’abadde mukozi ku ‘Wefunire Pamiti’ e Ntinda, yattibwa omusajja eyali muganzi we Dickens Agumeneitwe nga kivudde ku butakaanya wakati waabwe.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, Nakabembe okufuna mesegi ku ssimu, eteeberezebwa nti yali ya mukwano, y’emu ku nsonga lwaki omusajja yamukuba ekikonde mu lubuto, ekyamuttirawo mu bitundu bye Lugogo.

Owoyesigyire era agamba nti wadde mu kusooka Poliisi yali ekutte abasajja ab’enjawulo, bayimbuddwa kakalu ka Poliisi, okusobola okutekateeka fayiro ya Agumeneitwe okumutwala mu kkooti ku misango gy’obutemu.

Eddoboozi lya Luke ku muyizi we Makerere

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=f_VPQzj_lto